January 2013
OKUJJA KWA BANDA MU SSAZA LYA SSABASAJJA RONALD MUWENDA MUTEBI II E BUDDU, GGWANDA, KANABULEMU
Omulangira Ssuuna Mukasa Kateregga Kitayimbwa Ssebabenga Kabango Deogratias Ssalongo Banda yafuna obubaka bwa Banda yennyini. Yamugamba nti oluvanyuma lw’okulaba abalangira n’abambejja mubu Busiro nga tebagaliza, balina enkwe, enge, obukyayi, okwekuuza, okwegwanyiza, obutayagaliza era nga tebegomba kufuna kumanya nakutegera ebyo ebibafuula abalangira n’abambejja, yasalawo agende e Buddu (Buddukiro) asobole okufuna emirembe n’okuwumula.
Yagenda ne:
(i) Katambala owe Ngonge gweyajja e Kyanja mu Kyandondo eyali munywanyi we nfanfe. Yakiraba nga kyali ky’amakulu okumusaba amuwerekereko mu lugendo olwo olw’ebyafaayo n’entabalo ez’omugaso. Katambala oyo yali mukugu nnyo mukukomaga embugo. Bwatyo namusaba akyimuyambeko nga bagenze bombi. N’ensonga endala namusaba amuwabulenga wanaba asobeza n’omukumuwa amagezi wekinabanga kyetagisiza.
(ii) Mulengera ono naye yali muzukulu wa Kisolo, yaliko amaanyi agalengeranga ebizibu n’ebirungi ebiri mu maaso era yeyabasaguliranga ekkubo lyabwe okusobola okutambula obulungi. Mulengera yali (muntu musambwa). Yali afuuka okusinzira ng’embeera bweyetagiisanga.
(iii) N’omusambwa era Kabaka Ndawula. Amaanyi ga Ndawula gegamusobozesa okwengaanga abo beyansangayo e Kanabulemu nasobola okubafuga n’okufuna emikwano e Kiziba. Kinajukirwa nti Kabaka Ndawula ono, Ssekabaka Ssuuna II e Wamala bweyali agenda mu lutabalo ne Kattaba, Ndawula yamuwabula agane kugenda mu lutabalo olwo kubanga yali ajja kuwangula naye nga tajja kudda nga mulamu ye yagana era bwe kyali.
(iv) Nangoma eyakwatanga engabo ey’amakundi abiri nga yakulembera entabalo zonna naye bagenda naye.
Banda yayongera okunyonyola nti Bassekabaka bonna bagendanga e Kanabulemu olw’ensonga zino wammanga:
(a) Okuwumuza ebiroowozo
(b)Okwebulirira (okukola amasengere ne Banda eyabangawo mu kiseera ekyo)
(c) Okugabula emisambwa egisangibwa munsozi zaayo
(d)Okukiika ewa Ndawula
(e) Okunonya abazaana abanazalira engoma abalangira n’abambejja nga babanyaga e Kiziba n’awalala wonna webabanga batabadde ku luyi olwo. Era banyagangayo n’eby’obugagga nga amasanga, amagana g’ente n’abaddu.
Kino kyagenda mu maaso okutuuka ku Ssekabaka Muteesa II eyavaayo mu 1964.
AMAWULIRE AGAVA MU OFFISI YA ABATAKA AB’OBUBUSOLYA
Omulembe guno buli kiwandiko kiterekebwa oba kikuumibwa obutayoneka mu kyuma ekyakalimagezi (kompyuta). N’olwekyo Offisi ya Abataka Ab’obusolya yasalawo buli wa kika afune namba okusinzira mu kika kye. Okugeza ekika ky’effumbe kiri namba 6 (mukaaga) era ye namba yakyo.
Ow’omutuba Banda yalaba nga kirungi nnyo era naye nakikopa asobole okukikozesa mu lulyo olulangira.
Bassekabaka batandikira ku Kintu bwatyo nabeera namba emu 01, Ssekabaka Ssuuna I mwetuva ali namba 11 (kumi n’emu).
Bwekityo nekibeera nti Banda ye mwana we omubereberye
abeera namba emu (1)
Kabi abeera namba bbiri (2)
Ssembizi abeera namba ssatu (3)
Ssewatti abeera namba nnya (4)
Abaana Banda beyazaala Mukasa abeera namba emu (1).
Ekyokulabirako:
– Ssuuna Deogratias abeera 11 – 01 – 01 (ne namba ye mu mutuba omuto)
– Ssekamanya akulira omutuba omuto ogwa Nkumbi abeera 11 – 01 – 02 ne namba ye mu mutuba omuto.
– Kagolo Kagwala akulira omutuba omuto gwa Kagwala abeera 11 – 01- 03 ne namba ye mu mutuba omuto.
– Lugwa akulira omutuba omuto abeera 11 – 01 – 04 ne namba ye mu mutuba omuto.
– Kwere Mukasa akulira omutuba omuto ogwa Kwere Ssekimwanyi abeera 11 – 01 – 05 ne namba ye mu mutuba omuto ogwo.
Eno yenebeeranga enambika ye namba zaffe mu mutuba gwaffe ogwa Banda.
OMULONGO WA BANDA
Omulongo wa Banda ye mulongo we gwebamwaluza era nebamumusibira. Ono yayitibwanga “Kikindu kizaliibwa n’amaggwa”. Buli Banda yenna alya omutuba ogwo asibirwa omulongo we era kimukakatako okubeera naye.
Ng’ennaku z’omwezi 03 March 2013 ku ssaawa munana ez’ekiro mu ttumbi Ssalongo Ssuuna yafuna obubaka oluvanyuma lw’okusiba abalongo be nga Banda eyasooka amubuuza oba nga yali alina omulongo we. Yamuddamu nti yali tamulina. Yamulagira amufune era amusibe era nelinnya yamugamba nit ajja kulimuwa ng’amaze omukolo ogw’okumusiba.
EBYAFAAYO BYA BANDA
Bikunganyiziddwa Omulangira Ssuuna Mukasa Kateregga Kitayimbwa Ssebabenga Kabango Deogratias Ssalongo Banda nga ebimu bigyiddwa mu biwandiiko by’Omulangira Lumanyika Ssebabenga Deziderio ebyamuwebwa Omulangira Kalema Yozefu Maria ne Ndalama Andrea nga 30 July 1950.
Okunonyereza kuno kwesigamiziddwa ku bitabo:
(a) ebiri mu Kigango kya Ssabalangira wa Buganda;
(b) okulungamizibwa okw’empewo eziri ku bakongozi bazo;
(c) okuvunuka kwa Ssekabaka Ssuuna n’ebyo byeyakakasa ku Banda ng’omwana era Kiweewa we;
(d) n’ebirabwako ng’abalangira n’abambejja awamu na byonna byeyaleka n’ebyo ebyamuwebwa Ssekabaka Daudi Chwa II e Kanabulemu ng’emailo ye ttaka eri ku kkubo erye Kagera Kanabulemu kubanga buli mukulu w’omutuba mu Buganda yagabana mailo y’ettaka asobole okugabanyizibwako bazukulu be era bwe kyali naye abalangira abli bakulira emituba egyo bawebwanga obwa “trustee” ku byapa naye bwebazamanga ng’abo ababasikidde bakifula kya bwananyini. Kitalo nnyo!!
Olwali olwo Omwami wa Ssabasajja eyali atwala essaza lye Buddu najja eri Ssekabaka Ssuuna I e Gimbo namutegeza ng’abalabe abali bavudde e Tanzania bwe bamulumbye. Mu biseera ebyo waliwo obukama obwe: Kiziba, Ishozi, Kyamutwara, Ihangira (Jjangiro) ne Karagwe nga buli bumu bulina Omukama, bano betabalaanga olw’okwagala okugaziwa awamu n’okunyaga abakazi ne by’obugaga ng’ente.
Omwami wa Kabaka bweyamutegeza nalagira mutabani we Banda eyali yakava e Bunyoro, anti mwanyina Kabooga yali yafumbirwa Kabaka wayo ng’ate bali bamukwano nnyo, yakyalanga yo nnyo ate nga bwetunalaba eyo mumaaso yafuna yo nekyamusikirizanga okugendayo, Ssekabaka Ssuuna yamukwasa amafumu ne ngabo, ne ngoma namugamba nti taddanga nga tawangudde lutalo. Banda naserengeta ng’alwana. Abantu natta bangi era olwo lwelwata ne Kajerero Lubungya (ono yali Mulangira). Banda yeyongera nasula e Buyoga awo weyasula ne bayitawo Kyabanda. Bweyava awo yetadde e Bwende ayisemu asomose ennyanja Kyenda nga talina lyato wabula okutambuza ebigere bye, yetadde ku lusozi Kabale kati luyitibwa Sango Bay waliwo n’omwala na buli kati! Awo weyalekera omulangira gweyajja naye eyali alabirira ente ze nga ye Bemba, naserengeta e Masangamo ku ntabiro y’ennyanja Lweru (Victoria) era nawo yasomosawo bigere natuuka e Nangoma wano ekyatumisawo Nangoma bwe yali ajja yatambula ne mwannyina nga ye Nangoma we yamuleka namusubiza okumusangawo nga amaliriza olutalo. Yesulise agenze e Jjangiro (Ihangiro) atambudde atuuse ku Lusozi olulala olutono Lubanda awo we yasula. Bwe bwakya nayabya egye, abakwekwesi nebagenda okulwana ye nagenda okuyiga ng’alina embwa ze bbiri ne mukazi we ne musajja we omu.
Ne yeteeka mu ddungu okulasa ennangaazi – embwa ze ne zigoba ennangaazi. Yali ayimirira okulasa nga n’omubaka azze avudde ku batabaazi abagenze okulwaana namugamba nti olutalo lulemye. N’akyuka n’amutunulira okumunyumiza nga bweluli. Mu kiseera ekyo n’ayita embwa ze nezijja n’ennangaze ne ziyimirira mu maaso ge wamu n’emisota. Omusajja n’amugamba nti tulwanye n’abantu bangi naye nga ssi bantu ddala balinga ebifananyi. Abantu bo bonna bewaleeta bafudde baweddewo. Bafudde ekiddukano ne kawali. Banda n’alyoka amubuuza nti “Bonna bawedewo?” Ko omusajja ”wasigadde wo batono nnyo”. Banda namugamba nti “genda ogambe abo abasigaddewo, buli omu yettikke ejjinja limu bajje wano bakole obutuuti.” Amayinja ne bagaleeta ne bakolawo obutuuti buna (4).
Awo webakola obutuuti obwo, Banda we yali ayimiridde wasigalawo ebifananyi by’ebigere bye na leero bikyaliwo, era n’obutuuti obwo bukyaliwo. Awo Banda n’alyoka avaawo n’akomawo kyokka abantu be nebajja nga bafa nnyo – n’alyoka atuuka e Nnangoma gye yaleka mwannyina Nnangoma. Mwannyina yasanga aseredde. Nebetikka omulabo gwe ne baguleeta e Ggwanda ne bagutereka. We bagutereka wamerawo omuti. Era omuti ogwo guyitibwa Nnangoma.
Awo Banda n’alyoka addayo e Kabaale gye yaleka omulaalo we n’alwawo ebbanga ddene.
Oluvannyuma n’alyoka asaabala ennyanja n’addayo e Gimbo ewali Namulondo ya Kitaawe okunyumiza Kabaka. Bwe yasomoka ennyanja yasula Kyanika. Awo we yasula bayitawo Banda. Bwe yava awo n’addayo e Gimbo okunyumiza Kabaka bye yalaba mu lutalo. Olw’okuba nga okugenda e Buddu okutabala yali avudde Bunyoro mu lutabaalo olulala era nga yali aleseyo mwanyina Kabooga ng’ono Kabaka eyali afuga e Bunyoro yali amuwasiza ate ng’amwagala nnyo, nasalawo adeyo amunyumize byeyasanga mu lutalo.
Mwannyina Kabooga muka Kabaka naye yajja nebamuyozayozayo. Kyokka bwe yali ajja, yajja ne muka bba. Bwe batuuka ewa Banda ne bamukulisa. Olwo Banda n’ayagala muka Kabaka n’amusobyaako. Bwe wayita akabanga Banda n’adda eri Kabaka n’amuteegeeza nti “njagala kuddayo ndabe ente zange era n’ebintu byange ebirala bye nnalekayo”.
Omukama n’amukkiriza, n’amuwa n’abalangira basatu nti batwale obalabire ensi ennungi bazifuge. N’alyoka ajja nabo. Baasokera Kooki – Omulangira omu Kitayimbwa n’asiima ensi eyo Kooki. Ne balyoka balinya olusozi Katerero. Emabega waalwo waliiyo ekisaka ekyo ne bakituuma erinnya KIBANDA.
Mu kisaka omwo mwe baaliira ekyemisana. Ne basinziira omwo ne balengera ensi Misenyi ne Bukanga. Omulangira Kitayimbwa eyasigala e Kooki n’alyoka alagira omulaalo we agende alundire eyo ente ze mu malungu ge baalengera nga bali awo mu kisaka. Omulaalo n’agamba nti “ssebo gy’ogamba ntwale ente nga wala, oliwulira otya nga waliwo abazze okunzinda?” Awo Kitayimbwa n’amuwa engalabi n’amugamba nti “gy’okubanga nga waliwo abalabe. Era n’okuba enduulu okwo kwe nnawuliranga.”
Awo Omulangira Kabwa n’alengera Minziiro awamu n’ekibira nti Kyaalo, n’alyooka asereengeta e Miniziro. Yagenda okulaba nga kibira – kwe kwava olugero nti “Yagaba ebyalo neyerekerawo ebibira.”
Banda e Kooki yalekamu Kitayimbwa n’alyoka ajja e Banda e Kyanika n’asula awo. Enkeera n’asomoka ennyanja Kyenda, najja e Sango Bay we yaleka omulaalo we Bemba – n’alyooka azimba e Ndaalo. Awo yamalawo ennaku nnyingi. Bwe yava awo n’alyoka ajja e Ggwanda. Yasangamu omusajja omu erinnya lye Mizinga. Yalina abaana be 7 (musanvu) era ng’alina n’ente ze 9 (mwenda). Banda n’alyoka amugobamu. Omusajja oyo n’addukira e Buzindwa. Nayo teyalwayo. Abaayo ne bamugobayo, n’alyoka addukira e Luzinga mu Tanzania (Tanganyika). Banda n’alyoka asigala mu Ggwanda. Ebbanga bwe lyayitawo ttono Kabaka w’e Bunyoro Kyembambe n’amutumira omubaka, kubanga yaleka azizzayo omusango nga tegunnategerekeka. Mwannyina Kaboga ye yagumuletera ow’okufunyisa muka Kabaka olubuto gwe yali azze naye okumukulisaayo. Banda bwe yatuuka eri Kabaka, Kabaka n’alagira okumutundulamu amaaso. N’amugamba nti obadde wa kufa naye nkusasidde, bakutundulemu amaaso. Awo ne baggyamu amaaso. Kabaka n’alyooka alagira bamukwaase abalaalo be abalunda ente ze z’anywamu amata nti mumukume bulungi.
Banda teyalwa n’alimba abalaalo abakazi nti mumpe omwana antwale ku kayanja ente mwezinywera nnaabe ko. Nabo ne bakkiriza ne bamuwa omwana. Bwe yatuuka ku kayanja ne yesuulamu n’afa.
Kabaka Kyebambe bwe yawulira nti Banda afudde/azamye yesudde mu kayanja ng’agenze okunaaba, Kabaka n’alagira balaye engoma. Abantu bwe baawulira engoma ne bajja bangi. Kabaka n’alyoka alagira nti musibe akayanja ako amazzi galeme okukulukuta, mulyoke musene amazzi gonna. Era nabo bwe baakola ne basena amazzi gonna ne bagamalamu. Banda ne bamugyamu ne bamuteleka.
Banda ng’amaze okuterekebwa, Katikiro n’omulamuzi ne bagamba Kabaka nti bw’obeera ne Kabooga ajja kukutta kubanga omaze okutta mwannyina. Kabaka naye n’akkiriza kye bamugambye. N’alagira nti mukole ekitwalire mumussemu era musseemu n’omuzaana omu n’ente emu enzadde ng’erina ennyana eyonka, era musseemu n’ekyanzi kimu. Bwe munamala okumusaamu wamu n’ebintu ebyo mu kisitule mu kitwaale e Nkole mukisuule ku mugga Kagera. Era nabo bwe baakola.
Banda okuzaama yaleka azadde omwana omu Ggaali I (Banda II).
Ggaali oyo ye yasikira Banda. Ggaali n’alyoka ajja kuno.
Ggaali yazaala abaana bano: Mukasa, Kagwaala, Lunagoba. Abo nnyabwe yali wa Nkima. Abalala ye Zirimugwiira, Bamuloopa ne Lugwa.
OKUZAAMA KWA GGAALI I
Bwe yali ng’agenze e Bitemba okulaba nga bwe beesera ente ze, ye n’ayimirira ku kiswa waggulu – amangu ago ekiswa ne kyasama ne kimumira. Yalina amafumu ge 4 (ana). Amafumu ago gasigala ku kiswa wansi. Awo Ggaali I we yafiira e Bitembe Kabikere, ne bayitawo “Maziba ga Ggaali”. Ggaali I yasikirwa mutabani we omukulu Mukasa (Banda III).
Olwo ekika we kyetemamu ebitundu bibiri. Abamu nga tebagala Mukasa asike nga bo baagala Kagwaala y’aba asikira Ggaali I. Awo ne wabaawo empaka nnyingi ne baddamu ntalo okulwaana.
Kagwaala n’azuula omukulu/omulangira omu ye Kakakaya mutabani wa Galyaasa ne bakolera ddala olutalo okuzikiriza ab’ekika bonna. Ekyavaamu kwe kutwaala omusango e Mengo. Kabaka eyaliwo ye Muteesa I ate Katikiro we ye Kaddu Mukasa yali wa Musu. Ab’ekika abaali bakyaawa Mukasa nga bakulirwa Kagwala ne bateesa n’Abasese abaali babatwaala mu maato okubatuusa e Mengo. Okusaabala amaato ago basabalira e Kyabasimba. Baali tebanasaabala abakulu abo ne bagamba Abasese nti “Tujja kubalaga eryato Mukasa lyasabaddemu mulisale afe”. Amangu ago balibalaga eryaato eryo Abasese ne balisala abantu bonna ne bagwa munnyanja ne bafa. Kyokka mu lyato eddala mwalimu mukwano gwa Mukasa eyamanya olukwe olw’okutta Mukasa, erinnya lye ye Kaddu. Bwe batuuka e Mengo ne banjula nti Mukasa agudde munnyanja envubu ekubye eryaato abantu bonna ne bayikamu. Kyokka Mukasa afudde talina mwana. Ne balyoka banjulayo Kagwaala ne Lunagoba baganda ba Mukasa nti kubano kwe baba balonda anasikira Mukasa.
Awo Kaddu mukwano gwa Mukasa eyalaba ebyo ebyakolebwa munnyanja n’ayimirira mu maaso ga Kabaka n’akakasa nti Mukasa yazaala abaana 2 (babiri) gyebaali. Ab’ekika ne bagamba Kabaka nti omusajja oyo alimba. Mukasa teyazaala mwana n’omu. Kaddu n’agamba nti ssebo abaana gyebali kangende mbaleete. Bwe sibaleeta bantemako olunwe lwange olw’engalo.
Awo Kakakaya ne Kagwaala ne Lunagoba ne bakkiriza nti kale agende abaleete naffe tunaafa. Kabaka n’asindika Kaddu nti kale genda obaleete.
Kaddu n’ajja natuukira ku Kikaawa nga mwana wa Mukasa omukulu. Bweyagamba okumutwala bakojja be ne bamugaanira nti owaffe tagenda kufa abakonga (abalangira) battingana. Bakojja ba Kikaawa baali ba mutima olwo Kaddu n’alaga ku mwana omulala ye Bamunyaga. Naye yali mu bakojja be, baali ba Ngabi Nziba. Bwe yatuuka gye yali yasanga bamuddusizza nga bamututte e Buyooza ewa Kaitaba. Bakojja ba Bamunyaga ne basaba Kaddu essanga ly’enjovu awamu n’ente balyoke bamumuwe. Kaddu essanga n’alibawa, ente n’agitwala eri gye baali bamukweese. Ne balyoka bamumuwa n’alyoka ajja naye. Baggukira Nkozi. Tebaalwa ne batuuka eri Katikkiro Mukasa nga bali tebategedde era n’omwana nga tebamulabye. Katikkiro yabulira Kabaka ng’omwana bw’aleteddwa. Awo Kabaka yabayita bonna n’abalaga omwana n’abasalira omusango okubasinga. Ne bawebwa ekibonerezo okubatta bonna. Baali baweera 63.
Bamunyaga (Banda IV) yasikira Mukasa, Kabaka yawa Kaddu ebbaluwa enemwanjulanga ku Lubiri awatali kulwa ku nzigi. Era n’amuwa ensawo y’eddiba ly’ennyana y’ente Ggaaju nga mpunde. Era n’amuwa omusajja ye Ssebugulu Kataali okujja okukuza Bamunyaga. Okuva olwo ab’olugave ne bakwata embuga Kabenge eyali embuga ya Mukasa. Bamunyaga yazaala omwana erinnya lye Katiisa. Bamunyaga omwana oyo bwe yakula n’amusiigira Kabaka Muteesa I. Omwana oyo n’aganja nnyo eri Kabaka. Bwe yakula omwana oyo Kabaka n’amuwa mu Kitezi. Bwe yamujja mu Kitezi n’amuwa mu Kitamanyangamba. Bwe yamugya eyo n’amuwa mu Kirangazzi. Weyabeerera mu Kirangazzi, ne kitaawe Bamunyaga we yasiza omukono. Bakojja be ne bateesa okugenda okumubbayo. Mu kiseera ekyo ne Kabaka Muteesa I we yasiza omukono.
Bakojja be ne balyoka bamubbayo n’ajja asikira Kitaawe Bamunyaga. Bwe yamala okusika ne balyoka bamutuuma erinnya erya Banda V.
· Bamunyaga yazaala abaana: Katiisa (Banda VI), Baligwa, Zibugo, Kyagulani, Lumanyika, Ssebabenga, Kalazane ne Kyaluzi ne Birimu, Lukanga.
· Katiisa (Banda VI) omusika wa Bamunyaga yazaala abaana bano: Mukasa Makanaga, Waladde, Dona Ggaali II (Banda VII), Kabiswa, Kabango, Balimunkoola ne Mikael Kaggwa.
· Dona Ggaali II (Banda VII) omusika wa Banda VI yazaala abaana bano: Alex Mukasa ne Girioni Kiyonga.
Abaana ba Dona Ggaali abawala: Venetina, Christina, Maria, Yozefina, Virizinyi Nandawula.
· Alex Mukasa (Banda VIII) omusika wa Dona Ggaali II yazaala abaana: Vicensio Kasiita (Banda IX), Emmanuel Banda (Banda X), Petro Mukasa, Dona Juuko ne Ssuuna.
Banda I ng’ava mu Ssekabaka Ssuuna I e Gimbo.
Eno ye nsikirano:
Banda I yazaala Gaali I ye musika.
Gaali I (Banda II) yazaala Mukasa ne Kagwaala n’abalala – Yasikirwa Mukasa (Banda III).
Mukasa (Banda III) yazaala Bamunyaga ne Kikaawa. Yasikirwa Bamunyaga (Banda IV).
Bamunyaga (Banda IV) yasikirwa Katiisa (Banda V).
Katiisa (Banda V) yazaala Dona Gaali n’abalala. Yasikirwa Dona Gaali (Banda VI)
Dona Gaali (Banda VI) yazaala Alex Mukasa n’abalala. Yasikirwa Alex Mukasa (Banda VII)
Mukasa Alex (Banda VII) yazaala Katiisa n’abalala. Yasikirwa Katiisa (Banda VIII).
Katiisa (Banda VIII) yasikirwa Emmanuel Ssimbwa Banda (Banda IX)
Emmanuel Ssimbwa Banda (Banda IX) yawa Ssuuna Mukasa (Banda X).
NB: Waliwo ba Banda (bajjajaffe) abaali mu Busiro tutumanyi bibakwatako. Omuwendo gwabwe guweera ekumi (10). Okusinziira mu nsikirano nga bweyali bali awo mu makati. (Ow’omutuba afuba nnyo okunonya/okumanya ebibakwatako nabyo bibeere mu bwino).
Guno gwe mutuba omuto ogwa Mukasa era muno mwemuva Banda okusinziira ku byafaayo bya Mukasa ne Kagwaala.
Bamunyaga muto wa Kikaawa yazaala abaana 10:
1) Baligwa
2) Zibugo
3) Banda IV ye yasika
4) Kyagulanyi–Waladde
5) Lumanyika
6) Ssebabenga
7) Kalazane
8) Kyaluzi
9) Lukanga-Mukanaga
10)Birimu
BALIGWA (Omwana wa Bamunyaga)
Baligwa yazaala abaana: Batulumao Ganga, Lulenti ne Byesenda.
Balulumao Ganga ye yasikira Baligwa
Yazaala abaana: Leo Zibugo, Laulio Luzinyi Ndawula ne Marserina Nalinnya
Laulio Luzinyi Ndawula ye yasikira Laulenti Walulira
Yazaala abaana: Ndawula, Kiyonga, Kiyimba, Kimbugwe Gerald (Musike we)
Leo Zibugo yasikira Batulumao Ganga. Yazaala abaana: Kyebambe
LUMANYIKA (Omwana wa Bamunyaga)
Yazaala abaana: Yozefu Maria Byaginga ne Kalala – Bafatebazade.
SSEBABENGA: (Omwana wa Bamunyaga)
Yazaala abaana: Bulasio Gabyayi, Augustino Kaggwa ne Maria
Ssebabenga yasikirwa muzzukulu we Deziderio Lumanyika. Era ye yasikira Kitaawe Augustino Kaggwa.
GABYAYI: Ye yasikira mukulu we Yozefu Maria Byaginga
Yazaala: George W. Muwonge, Oliva Namatovu ne Nakanwagi
AUGUSTINO KAGGWA: Yazaala: Deziderio Lumanyika ne Tereza Nanjeru
DEZIDERO LUMANYIKA: Yazaala Augustino Kaggwa, Kiweewa Joseph, Banda Deziderio, Ddingiro Fred, Luwangula, Ndawula, Deo Mukasa Ssuuna, Noa Lumanyika Balimunkoola, Lutalo, Mukasa Celiso, Goloba, Alex Mukasa.
Deziderio Lumanyika yasikirwa Banda Deziderio ate Bbanda Deziderio nasikirwa mutabani we Bamunyaga Richard.
Abawala:
N:B: Bbanda aliwo kati ye Deo Mukasa Ssuuna naye nga mwana wa Lumanyika Deziderio.
MAKANAGA (Omwana wa Gaali I [Banda II])
Yazaala abaana: Eremegio Ssengoma;
Abawala: Girayida, Nzeramwezi, Alubima, Leokadia
Eremegio Ssengoma yasikira Makanaga. Yazaala Kabiswa.
BALIMUNKOOLA (Omwana wa Gaali I [Banda II])
Yazaala abaana: Yozefu Kizza Nnaku, Bifanio Kaggwa, Antionio Kyaluzi, Matovu Mutebi
Abawala: Magdalena, Anjera, Bernadetta ne Tereza Nkinzi
Yozefu ye yasikira Balimunkola. Yazaala abaana:……………..
Muno mwemuva Omutuba omuto ogwa Nkumbi gukulirwa Omulangira Ssekamanya Muwonge ava mu Joswa Matalisi
KIKAAWA (Omwana wa Mukasa Omukulu – Muganda wa Bamunyaga)
Kikaawa yazaala abaana 3: Nkumbi, Buzibwa ne Bamutenda
Buzibwa ye yasikira Kikaawa
Buzibwa yazaala abaana 2: Mupere ne Majenge
Majenge ye yasikira Buzibwa
NKUMBI: Yazaala abaana: Joswa Matalisi, Antonino Sserwanga ne Paulo Musisi.
JOSWA MATALISI: Yazaala abaana: Yovenesi Kaggwa, Yekosofant Ganaafa, Yofesi Lwanga, Yakobo Matovu, Wasswa, Benedicto Kamya, Emmanuel Lubega
Abawala: Maria Mazzi, Tereza Nnakanwagi, Yoanina Nnalubega
ANTONINO SSERWANGA: Yazaala abaano:
Anastasio Nkumbi, Eremegio Kamya ne Karoli Tebandeke
Abawala: Pasikazia Nandawula, Kevina, Jeni Nanjeru, Teopista, Puliska Nankanwagi
PAULO MUSISI: Yazaala abaana: Paulino Ndawula (ye yasikira Paulo Musisi), Anjerusi Lwanga, Matia Mulumba, Kasiita Wasajja, Leonardi Kikaawa, George Bamutenda, Ssengabi, Ssekikaawa ne Katiisa
Abawala: Costansia Nandawula, Veneranda Namaganda Mpologoma, Frank Nanjeru, Namatovu Namalwa Jane, Nakanwagi Namukabya, Nakiyimba ne Nayiga.
BAMUTENDA (Mwana wa Kikaawa)
Yazaala abaana: Zekeri Ndawula ne Yakobo Matovu
Zekeri Ndawula yazaala abaana: Iga, Zalwango Alice, Nnamatovu Nabaloga ne Mazzi Nalongo Nabawanuka.
Yakobo Matovu yazaala abaana: Stone Kiwanuka ne Margarti Nakanwagi
Stone yazaala abaana: Banda, Kayondo, Nassuuna, Nakibuuka, Nayiga
Yiga yazaala abaana: Kateregga ne Nnalubega, Lumanyika, Nakanwagi Mega, Nansamba, Ndawula, Nakibinge.
Guno gwe mutuba omuto ogwa Kagwaala (ogukulirwa Omulangira Kagolo e Kanabulemu)
EZADDE LYA KAGWAALA
Kagwaala yazaala abaana 2: Ssingoma ne Bisobye
Bisobye yasikira Kagwaala.
Bisobye yazaala abaana 8: Balwana, Mbugano, Nkumanyi, Lukomwa, Kisibika, Senda, Kabirizi ne Mutabalirwa.
Balwana yasikira Bisobye.
Balwana yazaala abaana 8: Kyayi, Buyoga, Nagalale, Balikumbuga, Ndalama, Nsekera, Ntengo ne Balizzakiwa.
Ntengo ye yasikira Balwana.
Ntengo yazaala Wakulira Kasaalire Mitegulaki
Mitegulaki yasikira Lunagoba
Kente yasikira Mitegulaki
Luka Muyonjo yasikira Kente
Musambangabo yasikira Bamuloopa
Mawulugungu yasikira Musambangabo
Ssekibaala yasikira Zirimugwira
Pio Byakiziba yasikira Ssekibaala
Nsiyaleeta Simeo yasikira Lukomwa
Kamya Mataayo yasikira Kabirizi
Kaggwa Mikael yasikira Ndalama
NDAWULA KALOLI (YAZAALA MUKUNGANYA KALEMA GEORGE)
Ndawula Kaloli (azaala Mukunganya Kalema) yasikira Mutabalirwa
Kagwaala yazaala Bisobye. Bisobye n’azaala Mutabalirwa. Mutabalirwa n’azaala Ndawula Kaloli.
Ndawula Kaloli yazaala: Nassuuna, Mukunganya Kalema George, Anatoli Lukanga, Kiweewa Paddy, Nalinnya ne Kimbugwe. Kiweewa Paddy namusikira.
Mukunganya Kalema George teyazala mwana mulenzi. Omwana wa muto we Anatoli Lukanga ayitibwa Ssuuna Ronald yamusikira.
Mukunganya Kalema George yazaala: Ndagira Sylivia, Nandawula Gertrude ne Nakamanya.
Zakaria yasikira Luwunga
Leo Mukasa yasikira Zakaria
Balintuuma Stefano yasikira Yoanna Luzinyi.
EZADDE LYA LUNAGOBA (Mwana wa Ggaali I (Banda II))
Lunagoba yazaala abaana 4: Mityegulaki, Makozi, Luwungu, Nyengere.
Mityegulaki ye yasikira Lunagoba.
Mityegulaki yazaala abaana 5; Kente, Kwerigira, Mwera, Bitatule ne Bisansa.
Kente yeyasikira Mityegulaki.
Kente yazaala abaana 3: Nasanyiri Bamulumbye, Balimuttajjo ne Luka Muyonjo eyasikira Kente.
LUWUNGU:
Yazaala: Yoanna ne Zakaria, Andrea Mutakaya (Zerida ne Veronica)
Zakaria ye yasikira Luwungu
Zakaria yazaala abaana: Yozefu Wamala ne Leo Mukasa
Leo Mukasa ye yasikira Zakaria.
LUKA MUYONJO: Yazaala: Paulo Kasajja, Yowanna Kagolo, Zakayo Kasajja
Abawala: Federesi Alinyikira, Kayiyatati, Elesi Nanjeru
PAULO KASAJJA: Yazaala Ssalongo Kiwewa ye musika, Fenekansi Matovu,
Abawala: Nalubega Abisagi (Nachwa), Tabitha Alinyikira, Kisakye, Perusi, Gladys Nakalema, Nnalinya
SSALONGO KIWEEWA GEORGE WILLIAM: Yazaala: Muyonjo Abbey, Grace Juuko Bisobye, Kagolo Isaac, Ndawula Andrew, Kayondo Joshua, Kakungulu Willy, Omulongo Wasswa, Mukasa Frank
Abawala: Nakalema Faith, Rebecca Kabiite, Sharon Nayiga, Nakayenga Irene, Omulongo Nakato, Namaganda Miriam
NASANAYIRI BAMULUMBYE: Nasanayiri Bamulumbye yazaala abaana:
Fransisiko Bisobye, Benedicto Kente, Donozio Ssebuggwawo (Kimwanyi) ne Laurensio.
Omuwala: Bernadetta Namaganda.
FRANSISIKO BISOBYE
Yazaala abaana bano: Paskale Mulumba Bisobye Lunagoba ne Michael Sizomu Kagolo. Abawala: Maria Nakalema, Matilida Namaganda, Stephania Nanjeru, Nalubega, Elizabeth, Maurisia ne Angella Nandawula (ono yafumbirwa mu Nigeria).
KENTE BENEDICTO
Yazala Paulo Lukanga (ye musika wa Benedicto)
Paulo Lukanga yazaala Edward (ye musika we). Edward yazaala Bantubalamu n’abalala.
DONOZIO SSEBUGGWAWO (KIMWANYI)
Yazaala: Donozio Ssemakula (ye musika we)
Abawala: Federesi Nanjeru
PASKALE MULUMBA BISOBYE LUNAGOBA
Ye yasikira Fransisiko Bisobye. Yazaala abaana bano: Ndawula Charles, Kateregga John, Juuko Francis, Bamulumbye-Lubega Joseph ne Bisobye Alexander Albert, Moses Muwonge Lunagoba.
Abawala: Nakiweewa Maureen, Nnalongo Nakimbugwe Proscovia, Nanjeru Sylivia, Namaganda Geraldine ne Namatovu Catherine.
MICHAEL SIZOMU KAGOLO
Yazaala: Mukasa Muyonjo Deogratias
Abawala: Flavia Kirabo Namutebi Nassolo
EZADDE LYA BAMULOOPA (Mwana wa Ggaali I [Banda II])
Bamuloopa yazaala abaana 3: Musambangabo, Lukooza ne Kagenyi. Musambangabo ye yasikira Bamuloopa.
Musambangabo yazaala abaana 8: Mawulungungu, Kyanda, Bweta, Kimunye, Kalemba, Kamya, Yakobo Jjinja ne Rafael Kapere.
Mawulungungu ye yazaala Zaverio Ssingoma.
EZADDE LYA ZIRIMUGWIIRA (Mwana wa Ggaali [Banda II])
Zirimugwira yazaala abaana 3: Njawuzi, Bino ne Ssekibaala.
Ssekibaala ye yasikira Zirimugwira.
Ssekibaala yazaala abaana 3: Pio, Katunzi ye Yonasani Daki (e Minziiro)
Pio yeyasikira Ssekibaala
Yonasani yazaala: Petro ne Bulasio
Petro ye yasikira Yonasani Daki
EZADDE LYA LUGWA (Omwana wa Ggaali [Banda II])
Lugwa yazaala Tayisire.
Tayisire yazaala: Lubaale, Kagolo, Bitali, Kyomya ne Kyagalebula.
Lubaale yazaala: Mutagejja ne Basiga
Mutagejja yazaala: Obadiya Kaasa, Mukasa, Mbalire, Kabukerege ne Zekeri Kasimba.
Basiga yazaala Jemusi ne Mukasa Aliwonye.
Jemusi nazaala: Teofiro ne Yofesi ne Dinsani ne Kaggwa ne Kasiita
Kagolo yazaala: Muyonga, Kikumbwa, Dominiko, Eria Kasimbazi ne Zedekia
Muyonga yazaala: Ssemakula, Ssekabira, Zirimu ne Mitala ………….
Ssemakula yazaala Kasankala ne Mulekawoze.
Ssekabira yazaala Tigabala
Zirimu yazaala Bitasi ne Fransisko
Dominico yazaala Paulo ne Petro Bitali
Eria Kasimbazi yazaala: Living, Byuma ne Butyampa
Zekeri Kasimba yazaala: Kitamirike, Living, Lubega, Damulira, Sajjalyabene.
Obadiya Kaasa yazaala: Lazaro Ssengoma
MULAGWE (Muto wa Banda)
Bweyalaba nga Banda takomawo, Mulagwe yajja n’abalangira abalala 3: Galyasa, Njuuju ne Kyomya.
Mulagwe yazaala omwana omu ye Ssekimwanyi. Era ye yasikira kitaawe Mulagwe.
Ssekimwanyi yazaala abaana 5: Lutaya, Kwere, Lukka, Bayise, Damian ne Petro
Lutaya ye yasikira Ssekimwanyi. Lutaya yazaala: Petro Lubya, Sira Kyomya, Andrea Kiwanuka, Ignansio Mulumba
Ignansio Mulumba ye yasikira Lutaya
Ignansio Mulumba yazaala: George Lubega, Karoli Ndawula, Francis Edward Ssengabi, Dominico, Lutaya Emmanuel Wasswa
George Lubega ye yasikira Iganansio Mulumba.
Ssebugwawo Sirasi mwana wa Ssekimwanyi. Yazaala Ssengabi Crispine, ………………………………. Yasikirwa …………………….
Mugenyi muganda wa Ssekimwanyi. Yazaala Tasabadde.
Tasabadde n’azaala Kibuuka ne Dominico Lubega ab’e Kitenga, Masaka.
Kibuuka ye yasikira Tasabadde.
Omutuba omuto ogwa Ssekimwanyi gukulirwa Omulangira Kwere Mukasa, Omwana wa Paulo Galyasa
KWERE
Kwere mwana wa Ssekimwanyi yazaala abaana: Mikael Bintubizibu, Mulisi Werage, Paulo Galyasa, Yoanna Nkuyege, Tomasi Kasajja, Boniface Kyaluzi.
Abawala: Tezira Cecilia Nangoma, Bitolio Kalungi
Mikael Bintubizibu ye yasikira Kwere
Mikael Bintubizibu yazaala abaana: Matayo Muwonge ne Antonio Kaddu
Abawala: Zabeti Nassuna, Assumpta Nanjeru, Tereza Nanjeru, Anjera Nnalwanga, Mudesta
Matayo Muwonge yasikira Mikael Bintubizibu.
Matayo Muwonge yazaala abaana: Yosefu Muwonge, George Lwanga, Christopher Sserwanga, Colovisi Luwangula, Mutebi, Mugenyi Mawanda, Kiwewa
Abawala: Tereza Namaganda, Kevina Nassuuna, Noelina Nnalwanga, Nalinnya Namukasa
LUKKA BAYISE
Lukka Bayise mwana wa Ssekimwanyi. Yazaala: John Bull, Yozefu Kamadaali. John Bull ye yasikira Lukka Bayise.
John Bull yazaala Ssengabi
DAMIANO KIBIRITI
Damiano Kibiriti omwana wa Ssekimwanyi yazaala abaana: Karoli Kiwumbye.
Abawala: Yozefina Namaganda, Maria, Leontina, Nnamaganda ne Nassolo.
PETRO
………………………………….
………………………………….
GALYASA
Galyasa yazaala omwana omu ye Kakakaya.
BA SSEKABAKA BA BUGANDA
Kato Kintu bwe yayawukana ne muganda we Wasswa Lukidi yajjira ddala mu Buganda. Olwo nga eyitibwa Muwawa. Yasanga Bemba yali Kabaka we Buganda ng’akaabya abantu akayirigombe, bwatyo n’amulwanyisa n’amutta n’akuba embuga ku Magonga. Era n’awasa muwala w’omusajja eyayitibwanga Basajjalwendo. Omuwala amanya ge nga Nnambi Nantutuululu e Bunnamwaya. Kintu yafuga Obuganda nga bwe yali amaze okutta Bbemba. Era wano yazaala omwana n’amutuuma Chwa Nabakka. Chwa Nabakka yazaala Kalemera oyo ye yazaala Kimera. Chwa Nabakka afudde kati luno lwe lulyo lwa Bassekabaka okuva ku Kintu.
1. Kintu Kato
2. Chwa Nabakka
3. Kimera – eyaggyibwa e Bunyoro
4. Tembo – eyaggwa eddalu
5. Kiggala Mukaabya-Kkungubu – eyawangaala ennyo
6. Kiyimba – eyakambuwala ennyo
7. Kayima – omulwanyi
8. Nakibinge – Omulwanya mmuli
9. Mulondo – eyali omuto
10. Jemba – eyali omuteefu
11. Ssuuna I – eyali omuteefu
12. Ssekamanya
13. Kimbugwe
14. Kateregga
15. Mutebi
16. Jjuuko – Mu mulembe gwe enjuba mwe yakolera amagero
17. Kayemba – Yawangaala nnyo
18. Tebandeke – Yali mukambwe
19. Ndawula – Yawangaala nnyo nga wa kisa
20. Kagulu Tebuchereke – Yali mukambwe nnyo
21. Kikulwe
22. Mawanda – Yali mutabaazi
23. Mwanga I – Obwakabaka yabumalako ennaku mwenda n’atemulwa
24. Namugala Lukanga – Muteefu era wa kisa
25. Kyabaggu
26. Jjunju – Yali muzira
27. Ssemakokiro – 1780-1786
28. Kamanya – 1786-1826
29. Ssuuna Ssemunywa – Ono yasooka kuba muteefu oluvanyuma yatta nnyo
Abantu mu mulembe gw’abaisirama mwe bajjira
1826-1856
30. Muteesa I – Christian Religious mwe bajjira. Yali mutangavu 1956-1884
31. Mwanga II – Eyatta abasomi 1884-1897
Ku mulembe gwe mwetondekamu ba Kabaka abalala
Olw’entalo ezaali mu Buganda
32. Kiweewa – 1888
33. Kalema – 1888 -1889
34. Daudi Chwa II – 1879 – 1939
35. Muteesa Walugembe II – 1939 – 1966
Ono yeyatuusa Uganda ku bwetwaaze era n’olulyo olulangira.
EBYAFAAYO EBIRALA EBYA BANDA I
Mu bufunze Banda ono bweyatuuka a Rukunyu ng’ateekateeka eggye agende okutabaala naye bwe yatuuka mu kkubo okumpi n’olusozi oluliranye Mitaga wano mwannyina Nangoma we yafiira. Era olusozi olwo n’ekyalo kyakwo kuyitibwa Nnangoma na buli kati.
Banda n’eggye lye balumba era olutalo ne luba lwa kabi nnyo. Enkomerero ya byonna Banda olutalo lwamulemerera era n’eggye lye ne littibwa nnyo ddala. Bwatyo kwe kudduka n’abo abaali basigaddewo ne bajja ne bagoba e Katongero Kanabulemu. Kyokka mu kusomoka omugga Kagera abantu bangi baafiramu nnyo ddaala. Nga batuuse e Kanabulemu kwe kufuna ekyalo ekiyitibwa “Buzindwa” awo ne bagobamu abatuuze abaamu. Wano Banda yalega engoma ye n’agituuma erinnya “Kikindu kizaalibwa n’amaaggwa” – amakulu tewali mulangira mutene. Buli gw’osemberera akukalubirira. Ate oluvannyuma Banda wano yavaawo n’agenda mu Ssango e Ggwanda wano n’akuba olubiri era mu bisera ebya Kabaka Daudi Chwa II era ettaka eryo lye yagaba era ku lusozi olwo we yateeka engoma eya kitaawe gyeyamuwa okumukulembera mu ntabalo ze ng’atabaala Tanzania.
Ng’amaze okutereera mu kitundu ekyo yateesa n’abakungu be okugenda okuwoza olutabaalo ewa Kitaawe kwe kulonda abanamuwerekererako.
Banda bweyatuuka ewa Kitaawe n’awoza era n’amunnyonyola engeri gye yagobebwamu era nga bwe yafuna ekitundu n’akiwambe n’okukubamu embuga era n’ategeeza Kabaka nga ekitundu ekyo bwekiri ekikulu nga kye kirimu engoma ye ey’obulangira Kabaka gye yamuwa.
Kabaka Kyebambe yalina mukyala we nga mugole. Banda kwe kumusobyako, eby’embi lwe lubuto. Naye lwali terunamanyika, Banda kwe kulaga mukodomi we nga bwe yali ategeka okudda e Buganda. Era mukodomi we kwe kumulagira ajje n’omulangira mu lunyoro “Omukonga” Winyi Ssansa Kitayimbwa II era ne Banda I yakkiriza n’ajja naye n’engoma eyamuwebwa yajja nayo. Bwe yatuuka e Kooki, Rakai n’akuba olubiri kuba ye teyafuna bamulwanyisa. Oyo ye Kamuswaga gw’owulira.
Banda ng’avudde e Bunyoro era nga wayisewo ennaku eziwera omukyala muka Kabaka yalabika ng’ali lubuto mu ngeri eteri mativu ku ludda lwa Kabaka. Era bwe yabuzibwa yategeza nga mukodomi wa Kabaka ayitibwa Banda bwe yavaako ebyo byonna. Mu busungu obungi Kabaka yamutumya mangu e Buganda, era bwe yatuusibwa e Bunyoro nga talina byawoza kwe kumusalira ekibonerezo kya kuttibwa. Naye oluvannyuma Kabaka yalaba nga kyansonyi okutta mukodomi we bwatyo n’amukolera ekibaya eky’envumbo n’amusibiramu n’amuteramu eby’okulya n’amusibiramu, namusindikiriza mu nnyanja. Bwatyo Banda nabulako amafiire.
Omukyala yazaala omwana omulenzi eyatumibwa Ggaali I. Yalabiriwa bulungi. Bwe yakula n’aleetebwa e Ssango okudda mu bukulu bwa Kitaawe. Abakulu abaaliwo bamukwatirwa obuggya ne bamutta era ne baziyiza abaana be okusikira engoma. Ensonga kwe kuletebwa ewa Kabaka Kamanya eyabatewuluza. Era mutabani wa Ggaali I, omuzzukulu wa Banda I nga ye “MUKASA” kwe kusikira engoma. Mukasa yalina baganda be 6 (mukaaga):
1. Mukasa
2. Kagwaala
3. Lunagoba
4. Zirimugwira
5. Bamuloopa
6. Lugwa
Mukasa yazaala abaana 2: Bamunyaga ne Kikaawa.
Bamunyaga ye yasikira kitaawe Mukasa.
Bamunyaga yazaala abaana 9:
1. Baligwa
2. Zibugo
3. Banda II
4. Kyagulanyi
5. Lumanyika
6. Ssebabenga
7. Kalazaane
8. Kyaluzi
9. Birimu
Katiisa (Banda V) ye yasikira kitaawe Bamunyaga.
Katiisa yazaala abaana 8:
1. Dona Ggaali II
2. Mukasa
3. Makanaga
4. Waladde
5. Kabiswa
6. Kabango
7. Balimunkoola
8. Mikayiri Kaggwa
Mu baana ba Gaali I (Banda II) beyazaala era ne yeyongera okwaza abaana ye Kagwaala. Kagwaala yazaala omwana omu Bisobye. Bisobye yazaala abaana 8:
1. Balwana
2. Mbugano
3. Nkumanyi
4. Lukomwa
5. Kisibika
6. Senda
7. Kabirizi
8. Mutabalirwa
Balwana ye musika wa kitaawe Bisobye.
Nga bwetwalaba ekikolwa Banda I kye yakola ey’okwagala muka kitaawe ate nga ye Kabaka, abaana be tebayala bulungi mu maaso ga Kabaka n’ag’abakungu abaaliwo. Wano wewava Abaana ba Banda I ne Kibi Magembe Kaganda obutategeragana era ne balabika ng’abalimu enjawulo mu kika sso nga bonna basibuka ku jjajja bwe omu Wasswa Lukidi. Naye bonna basigaza erinnya lya jjajja bwe erya “Biito” era aba Banda aba Kibi Magembe Kaganda ne Kamuswaga bonna bayitibwa “Babiito” okujjukira omuti guli Lubiito jjajjabwe Lukidi ne Kintu we baazaalirwa.
Ebyo bye bikulu mu kusaasaana kw’abaana ba Wasswa Lukidi naddala abaana ba Banda mu Buganda. Wano tusanye okumanya ebimu ku ngeri gye bayatibwamu n’amanya agamu amakulu ge batuuma.
1. Ekigambo “Mukonga” twafuna amakulu gakyo nga kiva mu lulimu Runyoro nti Mulangira okugamba nti Omukonga kye kimu n’okugamba nti Omulangira.
2. Erinnya KIWEEWA – Omwana omubereberye owa Kabaka gwe yazaala nga omulenzi yayitibwanga KIWEEWA ng’ayitibwa Kiweewa wa Kabaka kye kimu n’okugamba nti omwana omulenzi omukulu owa Kabaka. Erinnya eryo teryatuumwanga Balangira balala okutuusiza ddala mu mirembe gya Kabaka Ssuuna II ne Muteesa I 1826-1884. Erinnya lino lyatandika okutuumwa buli mulangira. Naye kati lyadira Kabaka yekka ali ku Namulondo.
3. Erinnya NASSOLO – Omwana omubereberye owa Kabaka gwe yazaalanga omuwala yayitibwanga Nassolo. Yayitibwanga Nassolo wa Kabaka. Kye kimu n’okugamba nti omwana omuwala omukulu owa Kabaka.
4. NNALINNYA (Kitiibwa sso ssi linnya) – Kabaka bweyafanga oyo eyabanga Lubuga ng’ayitibwa erinnya eryo. Era nalyo teryakkirizibwanga kutuumwa mumbejja mulala.
5. Ekigambo “Mulangira” kiva kungoma. Engoma Kabaka zeyawanga abaana be era n’eyo enkulu eyitibwa “Mulangira”. Awo nno abo bonna abasibuuka mu yo bayitibwa ABAANA B’ENGOMA.
6. OBUBONERO
(a) Omubala
Omubala guno abalangira tebaba nagwo kuba emibala gyonna egikubwa gyegattira kungoma yaabwe anti nga mubo mwe muli Ssabataka akulira ebika byonna. Naye olw’abamu abaaweebwa engoma nebagenda okutabaala engoma ezo bazituuma amannya mu nvuga yaazo era bbo ne bagyeyambisa ng’emibala. Okugeza Kibi Magembe Kaganda – Akuba nti “Akabulunga tekalyibwa”
Banda akuba nti “Kikindu kizaalibwa n’amaggwa”. Era abalangira tebakuba mubala bakuba ngoma nga bakuba Bantadde:
“Bantadde, Bantadde, Bantadde
Ggwe ngo, Ggwe musota
Ekirimala Abasajja nyago
Kwata endeku tudde e Bembe.”
Wetegereze: Engoma eno tekubibwa eri ku ttaka. Basitula nsitule omulala nalyoka agikuba.
(b) Omuziro
Abalangira tebaba nagwo okuva edda omuziro gwa nnyabwe buli omu gwe yeddira.
EBY’OKWEKKANYA
1. Lwaki mu abalangira ba Buganda aba Bbanda be bayitibwa abakonga ate ng’abalala ssi bwe babayita?
Ekigambo Mukonga amakulu gaakyo gaabadde tegannyonnyoddwa bulungi mu biseera ebiyise, n’olw’ekyo okukyogera ng’abakiwulira bulala. N’olw’ekyo Banda ng’agobeddwa e Tanzania bweyatuuka e Ssango, engombo ye yali egamba nti “Abakonga twalya” oba nti “Twayija Abakonga b’ensi”. Abantu abaalimu tebaafuna makulu gebitegeza. Awo bo bamuyita Mukonga. Era n’abaana be bonna babayitanga Bakonga. Enkomerero bayitibwa Bakonga. Na kati ng’osanze omu ku bazzukulu abo abaana ba Banda n’omubuuza omuziro gwe, akwanukula nti tuli BAKONGA. Olw’okuba bulijjo baawuliranga babayita BAKONGA.
2. Lwaki abalangira ba Banda tebalya by’ennyanja?
(i) Omulangira Banda bweyagenda e Tanzania mu Bukama bwe Kiziba, Kyamutwara, Jjangiro, Ishozi ne Karagwe yasanga Abakama bayo tebalya by’ennyanja olwamanyi gebakozesanga nemizizo byago. Ekyo kyamuwaliriza naye obutabirya anti yattanga nabo emikago bw’atyo naye nalekerawo okubirya.
(ii) Banda bweyali azaama yagwa mu nnyanja era bagenda okumujjamu ng’eby’ennyanja bimuliddelidde yenna. Awo abakulu abaaliwo ne bagaana abaana babwe nabo benyini obutabirya.
Wetegereze bino!!!
Abalangira bangi n’abambejja bantukiridde nga bagala okulya eby’ennyanja. Nze ngamba bwenti empewo zaffe zatulungamya olubereberye nga Omulangira Kalema George, Mukunganya (omukulu empewo gwezalonda okutereza ensonga) akyaliwo obutalya byannyanja n’olw’ekyo sirina buyinza bubakiriza okubirya. Buli Mulangira n’omumbejja musaba empewo zaffe bwezinamulungamya ne zimukiriza okulya ebyennyanja nga balya.
Eky’okulabirako: Abalangira Remegio Kamya (mutabani w’Omulangira Antonino Sserwanga ava mu mutuba omuto ogwa Nkumbi) ne Laurlio Matovu Kagawaala (mutabani w’Omulangira Kagolo ow’omutuba gwa Kagwaala e Kanabulemu) bagwa munnyanja lwa kuvuba. Ate waliwo Omulangira omulala Goloba (mutabani w’Omulangira Lumanyika Ssebabenga Deziderio) yafuna omulimu ogw’okuvuba ng’aleese omulimu gweyali akola ogw’okutunda amata. Empewo yamulungamya enfunda ezawerako omulimu ogw’okuvuba aguleke. Yagaana oguleka era enkomerero yaggwa mu nnyanja naye n’afa. Mbasaba ensonga ey’obutalya byannyanja tugitwale nga nkulu nnyo nnyo mu Mutuba gwa Banda.
Era ensonga endala enkulu ddala, empewo zatulungamya obutalya “buwunyawunya” ebyali ebyenyanja n’embizi nga tugenda mu mbuga. Abalangira n’Abambejja empewo zatukiriza okulya embizzi yaffe nga tuli mu biseera byaffe eby’eddembe.
Oyo alina amaanyi ge mpewo zaffe kimukakatako obutalya byanyanja anti zonna za kumulembe gwa Banda n’olw’ensonga eyo sikitufu okugatika ensonga n’obukulu bwayo awamu n’obulombolombo.
3. Lwaki Banda alowozebwa okuba nti yava Bunyoro?
Ensonga eno enyonyoleka bweti:
· Banda yalina mwannyina Kabooga (one tewali amanyi oba yali mumbejja oba mubere!) Ono yali muka Ssekabaka Kyebambe eyali afuga Bunyoro, olw’ensonga eyo yali mukodomi we ate nga muganzi olw’obuziira bwe ng’alwanira ku lukalu ne munnyanja ng’ate takozesa maato wabula okutambulako obutamubuzi. Yamuyamba nnyo okugoba abalabe be abavanga mu buvanjuba bwa Uganda.
· Yalina omukwano n’abalangira be Bunyoro era ye yatwala Omulangira Kitayimbwa e Kooki okulya obwa Kamuswaga. Tuyinza okugamba nti yali kayungirizi wakati wa Buganda ne Bunyoro.
· Okugendagenda e Bunyoro kwamufunyisayo omuzana ate ng’ono yali muka Ssekabaka waayo era ono yamutiika ettu namuzalamu omwana oyo ye Ggaali I (Banda II). Abalangira ba Buganda kano kalombolombo anti n’Omulangira Kalemera Mutikiza Nkumbi naye Ssekabaka Kimera yamuzalira Bunyoro, olowoza ekyo kyamufula Munyoro?
· Bw’otunulira ebiri e Kooki ewa Kamuswaga ye yalya bwa Ssaza eyo nayo njawulo Omulangira “talya bwami”. Ebyafaayo biraga nti Banda yagendanga Mengo okulanya n’okukiika sso teyagendanga Bunyoro! Amannya agatumibwanga abalangira n’abambejja tegali ge Bunyoro wabula gaali ga Buganda.
· Ensonga endala Ssekabaka Muteesa II yagendanga nnyo e Kanabulemu era yakubayo embiri bbiri – olwe Kalakeri ne Rukunyu era yayogeranga lunye nti ye agenda wa Jjaaja we Banda era yagambanga nti ngenze “Wumudde”.
· Enkola eyaliwo ku Muchwa abalangira abakulu b’emituba Ssekabaka Chwa II yabawanga mailo ekakasa nti Omutuba gulina embuga yagwo era abalangira n’abambejja webakunganiranga okusanyukamu n’okumala ensonga zabwe. Eno Banda agirina. Kyamukisa mulungi tenatundibwa anti ettaka lyafuuka kyatunzi liringa zaabu!!
OKUJJA KWA BANDA MU SSAZA LYA SSABASAJJA RONALD MUWENDA MUTEBI II E BUDDU, GGWANDA, KANABULEMU
Omulangira Ssuuna Mukasa Kateregga Kitayimbwa Ssebabenga Kabango Deogratias Ssalongo Banda yafuna obubaka bwa Banda yennyini. Yamugamba nti oluvanyuma lw’okulaba abalangira n’abambejja mubu Busiro nga tebagaliza, balina enkwe, enge, obukyayi, okwekuuza, okwegwanyiza, obutayagaliza era nga tebegomba kufuna kumanya nakutegera ebyo ebibafuula abalangira n’abambejja, yasalawo agende e Buddu (Buddukiro) asobole okufuna emirembe n’okuwumula.
Yagenda ne:
- Katambala owe Ngonge gweyajja e Kyanja mu Kyandondo eyali munywanyi we nfanfe. Yakiraba nga kyali ky’amakulu okumusaba amuwerekereko mu lugendo olwo olw’ebyafaayo n’entabalo ez’omugaso. Katambala oyo yali mukugu nnyo mukukomaga embugo. Bwatyo namusaba akyimuyambeko nga bagenze bombi. N’ensonga endala namusaba amuwabulenga wanaba asobeza n’omukumuwa amagezi wekinabanga kyetagisiza.
- Mulengera ono naye yali muzukulu wa Kisolo, yaliko amaanyi agalengeranga ebizibu n’ebirungi ebiri mu maaso era yeyabasaguliranga ekkubo lyabwe okusobola okutambula obulungi.Mulengera yali (muntu musambwa). Yali afuuka okusinzira ng’embeera bweyetagiisanga.
- N’omusambwa era Kabaka Ndawula. Amaanyi ga Ndawula gegamusobozesa okwengaanga abo beyansangayo e Kanabulemu nasobola okubafuga n’okufuna emikwano e Kiziba. Kinajukirwa nti Kabaka Ndawula ono, Ssekabaka Ssuuna II e Wamala bweyali agenda mu lutabalo ne Kattaba, Ndawula yamuwabula agane kugenda mu lutabalo olwo kubanga yali ajja kuwangula naye nga tajja kudda nga mulamu ye yagana era bwe kyali.
- Nangoma eyakwatanga engabo ey’amakundi abiri nga yakulembera entabalo zonna naye bagenda naye.
Banda yayongera okunyonyola nti Bassekabaka bonna bagendanga e Kanabulemu olw’ensonga zino wammanga:
- Okuwumuza ebiroowozo
- Okwebulirira (okukola amasengere ne Banda eyabangawo mu kiseera ekyo)
- Okugabula emisambwa egisangibwa munsozi zaayo
- Okukiika ewa Ndawula
- Okunonya abazaana abanazalira engoma abalangira n’abambejja nga babanyaga e Kiziba n’awalala wonna webabanga batabadde ku luyi olwo.Era banyagangayo n’eby’obugagga nga amasanga, amagana g’ente n’abaddu.
Kino kyagenda mu maaso okutuuka ku Ssekabaka Muteesa II eyavaayo mu 1964.
AMAWULIRE AGAVA MU OFFISI YA ABATAKA AB’OBUBUSOLYA
Omulembe guno buli kiwandiko kiterekebwa oba kikuumibwa obutayoneka mu kyuma ekyakalimagezi (kompyuta). N’olwekyo Offisi ya Abataka Ab’obusolya yasalawo buli wa kika afune namba okusinzira mu kika kye. Okugeza ekika ky’effumbe kiri namba 6 (mukaaga) era ye namba yakyo.
Ow’omutuba Banda yalaba nga kirungi nnyo era naye nakikopa asobole okukikozesa mu lulyo olulangira.
Bassekabaka batandikira ku Kintu bwatyo nabeera namba emu 01, Ssekabaka Ssuuna I mwetuva ali namba 11 (kumi n’emu).
Bwekityo nekibeera nti Banda ye mwana we omubereberye
abeera namba emu (1)
Kabi abeera namba bbiri (2)
Ssembizi abeera namba ssatu (3)
Ssewatti abeera namba nnya (4)
Abaana Banda beyazaala Mukasa abeera namba emu (1).
Ekyokulabirako:
- Ssuuna Deogratias abeera 11 – 01 – 01 (ne namba ye mu mutuba omuto)
- Ssekamanya akulira omutuba omuto ogwa Nkumbi abeera 11 – 01 – 02 ne namba ye mu mutuba omuto.
- Kagolo Kagwala akulira omutuba omuto gwa Kagwala abeera 11 – 01- 03 ne namba ye mu mutuba omuto.
- Lugwa akulira omutuba omuto abeera 11 – 01 – 04 ne namba ye mu mutuba omuto.
- Kwere Mukasa akulira omutuba omuto ogwa Kwere Ssekimwanyi abeera 11 – 01 – 05 ne namba ye mu mutuba omuto ogwo.
Eno yenebeeranga enambika ye namba zaffe mu mutuba gwaffe ogwa Banda.
OMULONGO WA BANDA
Omulongo wa Banda ye mulongo we gwebamwaluza era nebamumusibira. Ono yayitibwanga “Kikindu kizaliibwa n’amaggwa”. Buli Banda yenna alya omutuba ogwo asibirwa omulongo we era kimukakatako okubeera naye.
Ng’ennaku z’omwezi 03 March 2013 ku ssaawa munana ez’ekiro mu ttumbi Ssalongo Ssuuna yafuna obubaka oluvanyuma lw’okusiba abalongo be nga Banda eyasooka amubuuza oba nga yali alina omulongo we. Yamuddamu nti yali tamulina. Yamulagira amufune era amusibe era nelinnya yamugamba nit ajja kulimuwa ng’amaze omukolo ogw’okumusiba.
EBYAFAAYO BYA BANDA
Bikunganyiziddwa Omulangira Ssuuna Mukasa Kateregga Kitayimbwa Ssebabenga Kabango Deogratias Ssalongo Banda nga ebimu bigyiddwa mu biwandiiko by’Omulangira Lumanyika Ssebabenga Deziderio ebyamuwebwa Omulangira Kalema Yozefu Maria ne Ndalama Andrea nga 30 July 1950.
Okunonyereza kuno kwesigamiziddwa ku bitabo:
- ebiri mu Kigango kya Ssabalangira wa Buganda;
- okulungamizibwa okw’empewo eziri ku bakongozi bazo;
- okuvunuka kwa Ssekabaka Ssuuna n’ebyo byeyakakasa ku Banda ng’omwana era Kiweewa we;
- n’ebirabwako ng’abalangira n’abambejja awamu na byonna byeyaleka n’ebyo ebyamuwebwa Ssekabaka Daudi Chwa II e Kanabulemu ng’emailo ye ttaka eri ku kkuboerye Kagera Kanabulemu kubanga buli mukulu w’omutuba mu Buganda yagabana mailo y’ettaka asobole okugabanyizibwako bazukulu be era bwe kyali naye abalangira abli bakulira emituba egyo bawebwanga obwa “trustee” ku byapa naye bwebazamanga ng’abo ababasikidde bakifula kya bwananyini. Kitalo nnyo!!
Olwali olwo Omwami wa Ssabasajja eyali atwala essaza lye Buddu najja eri Ssekabaka Ssuuna I e Gimbo namutegeza ng’abalabe abali bavudde e Tanzania bwe bamulumbye. Mu biseera ebyo waliwo obukama obwe: Kiziba, Ishozi, Kyamutwara, Ihangira (Jjangiro) ne Karagwe nga buli bumu bulina Omukama, bano betabalaanga olw’okwagala okugaziwa awamu n’okunyaga abakazi ne by’obugaga ng’ente.
Omwami wa Kabaka bweyamutegeza nalagira mutabani we Banda eyali yakava e Bunyoro, anti mwanyina Kabooga yali yafumbirwa Kabaka wayo ng’ate bali bamukwano nnyo, yakyalanga yo nnyo ate nga bwetunalaba eyo mumaaso yafuna yo nekyamusikirizanga okugendayo, Ssekabaka Ssuuna yamukwasa amafumu ne ngabo, ne ngoma namugamba nti taddanga nga tawangudde lutalo. Banda naserengeta ng’alwana. Abantu natta bangi era olwo lwelwata ne Kajerero Lubungya (ono yali Mulangira). Banda yeyongera nasula e Buyoga awo weyasula ne bayitawo Kyabanda. Bweyava awo yetadde e Bwende ayisemu asomose ennyanja Kyenda nga talina lyato wabula okutambuza ebigere bye, yetadde ku lusozi Kabale kati luyitibwa Sango Bay waliwo n’omwala na buli kati! Awo weyalekera omulangira gweyajja naye eyali alabirira ente ze nga ye Bemba, naserengeta e Masangamo ku ntabiro y’ennyanja Lweru (Victoria) era nawo yasomosawo bigere natuuka e Nangoma wano ekyatumisawo Nangoma bwe yali ajja yatambula ne mwannyina nga ye Nangoma we yamuleka namusubiza okumusangawo nga amaliriza olutalo. Yesulise agenze e Jjangiro (Ihangiro) atambudde atuuse ku Lusozi olulala olutono Lubanda awo we yasula. Bwe bwakya nayabya egye, abakwekwesi nebagenda okulwana ye nagenda okuyiga ng’alina embwa ze bbiri ne mukazi we ne musajja we omu.
Ne yeteeka mu ddungu okulasa ennangaazi – embwa ze ne zigoba ennangaazi. Yali ayimirira okulasa nga n’omubaka azze avudde ku batabaazi abagenze okulwaana namugamba nti olutalo lulemye. N’akyuka n’amutunulira okumunyumiza nga bweluli. Mu kiseera ekyo n’ayita embwa ze nezijja n’ennangaze ne ziyimirira mu maaso ge wamu n’emisota. Omusajja n’amugamba nti tulwanye n’abantu bangi naye nga ssi bantu ddala balinga ebifananyi. Abantu bo bonna bewaleeta bafudde baweddewo. Bafudde ekiddukano ne kawali. Banda n’alyoka amubuuza nti “Bonna bawedewo?” Ko omusajja ”wasigadde wo batono nnyo”. Banda namugamba nti “genda ogambe abo abasigaddewo, buli omu yettikke ejjinja limu bajje wano bakole obutuuti.” Amayinja ne bagaleeta ne bakolawo obutuuti buna (4).
Awo webakola obutuuti obwo, Banda we yali ayimiridde wasigalawo ebifananyi by’ebigere bye na leero bikyaliwo, era n’obutuuti obwo bukyaliwo. Awo Banda n’alyoka avaawo n’akomawo kyokka abantu be nebajja nga bafa nnyo – n’alyoka atuuka e Nnangoma gye yaleka mwannyina Nnangoma. Mwannyina yasanga aseredde. Nebetikka omulabo gwe ne baguleeta e Ggwanda ne bagutereka. We bagutereka wamerawo omuti. Era omuti ogwo guyitibwa Nnangoma.
Awo Banda n’alyoka addayo e Kabaale gye yaleka omulaalo we n’alwawo ebbanga ddene.
Oluvannyuma n’alyoka asaabala ennyanja n’addayo e Gimbo ewali Namulondo ya Kitaawe okunyumiza Kabaka. Bwe yasomoka ennyanja yasula Kyanika. Awo we yasula bayitawo Banda. Bwe yava awo n’addayo e Gimbo okunyumiza Kabaka bye yalaba mu lutalo. Olw’okuba nga okugenda e Buddu okutabala yali avudde Bunyoro mu lutabaalo olulala era nga yali aleseyo mwanyina Kabooga ng’ono Kabaka eyali afuga e Bunyoro yali amuwasiza ate ng’amwagala nnyo, nasalawo adeyo amunyumize byeyasanga mu lutalo.
Mwannyina Kabooga muka Kabaka naye yajja nebamuyozayozayo. Kyokka bwe yali ajja, yajja ne muka bba. Bwe batuuka ewa Banda ne bamukulisa. Olwo Banda n’ayagala muka Kabaka n’amusobyaako. Bwe wayita akabanga Banda n’adda eri Kabaka n’amuteegeeza nti “njagala kuddayo ndabe ente zange era n’ebintu byange ebirala bye nnalekayo”.
Omukama n’amukkiriza, n’amuwa n’abalangira basatu nti batwale obalabire ensi ennungi bazifuge. N’alyoka ajja nabo. Baasokera Kooki – Omulangira omu Kitayimbwa n’asiima ensi eyo Kooki. Ne balyoka balinya olusozi Katerero. Emabega waalwo waliiyo ekisaka ekyo ne bakituuma erinnya KIBANDA.
Mu kisaka omwo mwe baaliira ekyemisana. Ne basinziira omwo ne balengera ensi Misenyi ne Bukanga. Omulangira Kitayimbwa eyasigala e Kooki n’alyoka alagira omulaalo we agende alundire eyo ente ze mu malungu ge baalengera nga bali awo mu kisaka. Omulaalo n’agamba nti “ssebo gy’ogamba ntwale ente nga wala, oliwulira otya nga waliwo abazze okunzinda?” Awo Kitayimbwa n’amuwa engalabi n’amugamba nti “gy’okubanga nga waliwo abalabe. Era n’okuba enduulu okwo kwe nnawuliranga.”
Awo Omulangira Kabwa n’alengera Minziiro awamu n’ekibira nti Kyaalo, n’alyooka asereengeta e Miniziro. Yagenda okulaba nga kibira – kwe kwava olugero nti “Yagaba ebyalo neyerekerawo ebibira.”
Banda e Kooki yalekamu Kitayimbwa n’alyoka ajja e Banda e Kyanika n’asula awo. Enkeera n’asomoka ennyanja Kyenda, najja e Sango Bay we yaleka omulaalo we Bemba – n’alyooka azimba e Ndaalo. Awo yamalawo ennaku nnyingi. Bwe yava awo n’alyoka ajja e Ggwanda. Yasangamu omusajja omu erinnya lye Mizinga. Yalina abaana be 7 (musanvu) era ng’alina n’ente ze 9 (mwenda). Banda n’alyoka amugobamu. Omusajja oyo n’addukira e Buzindwa. Nayo teyalwayo. Abaayo ne bamugobayo, n’alyoka addukira e Luzinga mu Tanzania (Tanganyika). Banda n’alyoka asigala mu Ggwanda. Ebbanga bwe lyayitawo ttono Kabaka w’e Bunyoro Kyembambe n’amutumira omubaka, kubanga yaleka azizzayo omusango nga tegunnategerekeka. Mwannyina Kaboga ye yagumuletera ow’okufunyisa muka Kabaka olubuto gwe yali azze naye okumukulisaayo. Banda bwe yatuuka eri Kabaka, Kabaka n’alagira okumutundulamu amaaso. N’amugamba nti obadde wa kufa naye nkusasidde, bakutundulemu amaaso. Awo ne baggyamu amaaso. Kabaka n’alyooka alagira bamukwaase abalaalo be abalunda ente ze z’anywamu amata nti mumukume bulungi.
Banda teyalwa n’alimba abalaalo abakazi nti mumpe omwana antwale ku kayanja ente mwezinywera nnaabe ko. Nabo ne bakkiriza ne bamuwa omwana. Bwe yatuuka ku kayanja ne yesuulamu n’afa.
Kabaka Kyebambe bwe yawulira nti Banda afudde/azamye yesudde mu kayanja ng’agenze okunaaba, Kabaka n’alagira balaye engoma. Abantu bwe baawulira engoma ne bajja bangi. Kabaka n’alyoka alagira nti musibe akayanja ako amazzi galeme okukulukuta, mulyoke musene amazzi gonna. Era nabo bwe baakola ne basena amazzi gonna ne bagamalamu. Banda ne bamugyamu ne bamuteleka.
Banda ng’amaze okuterekebwa, Katikiro n’omulamuzi ne bagamba Kabaka nti bw’obeera ne Kabooga ajja kukutta kubanga omaze okutta mwannyina. Kabaka naye n’akkiriza kye bamugambye. N’alagira nti mukole ekitwalire mumussemu era musseemu n’omuzaana omu n’ente emu enzadde ng’erina ennyana eyonka, era musseemu n’ekyanzi kimu. Bwe munamala okumusaamu wamu n’ebintu ebyo mu kisitule mu kitwaale e Nkole mukisuule ku mugga Kagera. Era nabo bwe baakola.
Banda okuzaama yaleka azadde omwana omu Ggaali I (Banda II).
Ggaali oyo ye yasikira Banda. Ggaali n’alyoka ajja kuno.
Ggaali yazaala abaana bano: Mukasa, Kagwaala, Lunagoba. Abo nnyabwe yali wa Nkima. Abalala ye Zirimugwiira, Bamuloopa ne Lugwa.
OKUZAAMA KWA GGAALI I
Bwe yali ng’agenze e Bitemba okulaba nga bwe beesera ente ze, ye n’ayimirira ku kiswa waggulu – amangu ago ekiswa ne kyasama ne kimumira. Yalina amafumu ge 4 (ana). Amafumu ago gasigala ku kiswa wansi. Awo Ggaali I we yafiira e Bitembe Kabikere, ne bayitawo “Maziba ga Ggaali”. Ggaali I yasikirwa mutabani we omukulu Mukasa (Banda III).
Olwo ekika we kyetemamu ebitundu bibiri. Abamu nga tebagala Mukasa asike nga bo baagala Kagwaala y’aba asikira Ggaali I. Awo ne wabaawo empaka nnyingi ne baddamu ntalo okulwaana.
Kagwaala n’azuula omukulu/omulangira omu ye Kakakaya mutabani wa Galyaasa ne bakolera ddala olutalo okuzikiriza ab’ekika bonna. Ekyavaamu kwe kutwaala omusango e Mengo. Kabaka eyaliwo ye Muteesa I ate Katikiro we ye Kaddu Mukasa yali wa Musu. Ab’ekika abaali bakyaawa Mukasa nga bakulirwa Kagwala ne bateesa n’Abasese abaali babatwaala mu maato okubatuusa e Mengo. Okusaabala amaato ago basabalira e Kyabasimba. Baali tebanasaabala abakulu abo ne bagamba Abasese nti “Tujja kubalaga eryato Mukasa lyasabaddemu mulisale afe”. Amangu ago balibalaga eryaato eryo Abasese ne balisala abantu bonna ne bagwa munnyanja ne bafa. Kyokka mu lyato eddala mwalimu mukwano gwa Mukasa eyamanya olukwe olw’okutta Mukasa, erinnya lye ye Kaddu. Bwe batuuka e Mengo ne banjula nti Mukasa agudde munnyanja envubu ekubye eryaato abantu bonna ne bayikamu. Kyokka Mukasa afudde talina mwana. Ne balyoka banjulayo Kagwaala ne Lunagoba baganda ba Mukasa nti kubano kwe baba balonda anasikira Mukasa.
Awo Kaddu mukwano gwa Mukasa eyalaba ebyo ebyakolebwa munnyanja n’ayimirira mu maaso ga Kabaka n’akakasa nti Mukasa yazaala abaana 2 (babiri) gyebaali. Ab’ekika ne bagamba Kabaka nti omusajja oyo alimba. Mukasa teyazaala mwana n’omu. Kaddu n’agamba nti ssebo abaana gyebali kangende mbaleete. Bwe sibaleeta bantemako olunwe lwange olw’engalo.
Awo Kakakaya ne Kagwaala ne Lunagoba ne bakkiriza nti kale agende abaleete naffe tunaafa. Kabaka n’asindika Kaddu nti kale genda obaleete.
Kaddu n’ajja natuukira ku Kikaawa nga mwana wa Mukasa omukulu. Bweyagamba okumutwala bakojja be ne bamugaanira nti owaffe tagenda kufa abakonga (abalangira) battingana. Bakojja ba Kikaawa baali ba mutima olwo Kaddu n’alaga ku mwana omulala ye Bamunyaga. Naye yali mu bakojja be, baali ba Ngabi Nziba. Bwe yatuuka gye yali yasanga bamuddusizza nga bamututte e Buyooza ewa Kaitaba. Bakojja ba Bamunyaga ne basaba Kaddu essanga ly’enjovu awamu n’ente balyoke bamumuwe. Kaddu essanga n’alibawa, ente n’agitwala eri gye baali bamukweese. Ne balyoka bamumuwa n’alyoka ajja naye. Baggukira Nkozi. Tebaalwa ne batuuka eri Katikkiro Mukasa nga bali tebategedde era n’omwana nga tebamulabye. Katikkiro yabulira Kabaka ng’omwana bw’aleteddwa. Awo Kabaka yabayita bonna n’abalaga omwana n’abasalira omusango okubasinga. Ne bawebwa ekibonerezo okubatta bonna. Baali baweera 63.
Bamunyaga (Banda IV) yasikira Mukasa, Kabaka yawa Kaddu ebbaluwa enemwanjulanga ku Lubiri awatali kulwa ku nzigi. Era n’amuwa ensawo y’eddiba ly’ennyana y’ente Ggaaju nga mpunde. Era n’amuwa omusajja ye Ssebugulu Kataali okujja okukuza Bamunyaga. Okuva olwo ab’olugave ne bakwata embuga Kabenge eyali embuga ya Mukasa. Bamunyaga yazaala omwana erinnya lye Katiisa. Bamunyaga omwana oyo bwe yakula n’amusiigira Kabaka Muteesa I. Omwana oyo n’aganja nnyo eri Kabaka. Bwe yakula omwana oyo Kabaka n’amuwa mu Kitezi. Bwe yamujja mu Kitezi n’amuwa mu Kitamanyangamba. Bwe yamugya eyo n’amuwa mu Kirangazzi. Weyabeerera mu Kirangazzi, ne kitaawe Bamunyaga we yasiza omukono. Bakojja be ne bateesa okugenda okumubbayo. Mu kiseera ekyo ne Kabaka Muteesa I we yasiza omukono.
Bakojja be ne balyoka bamubbayo n’ajja asikira Kitaawe Bamunyaga. Bwe yamala okusika ne balyoka bamutuuma erinnya erya Banda V.
- Bamunyaga yazaala abaana: Katiisa (Banda VI), Baligwa, Zibugo, Kyagulani, Lumanyika, Ssebabenga, Kalazane ne Kyaluzi ne Birimu, Lukanga.
- Katiisa (Banda VI) omusika wa Bamunyaga yazaala abaana bano: Mukasa Makanaga, Waladde, Dona Ggaali II (Banda VII), Kabiswa, Kabango, Balimunkoola ne Mikael Kaggwa.
- Dona Ggaali II (Banda VII) omusika wa Banda VI yazaala abaana bano: Alex Mukasa ne Girioni Kiyonga.
Abaana ba Dona Ggaali abawala: Venetina, Christina, Maria, Yozefina, Virizinyi Nandawula.
- Alex Mukasa (Banda VIII) omusika wa Dona Ggaali II yazaala abaana: Vicensio Kasiita (Banda IX), Emmanuel Banda (Banda X), Petro Mukasa, Dona Juuko ne Ssuuna.
Banda I ng’ava mu Ssekabaka Ssuuna I e Gimbo.
Eno ye nsikirano:
Banda I yazaala Gaali I ye musika.
Gaali I (Banda II) yazaala Mukasa ne Kagwaala n’abalala – Yasikirwa Mukasa (Banda III).
Mukasa (Banda III) yazaala Bamunyaga ne Kikaawa. Yasikirwa Bamunyaga (Banda IV).
Bamunyaga (Banda IV) yasikirwa Katiisa (Banda V).
Katiisa (Banda V) yazaala Dona Gaali n’abalala. Yasikirwa Dona Gaali (Banda VI)
Dona Gaali (Banda VI) yazaala Alex Mukasa n’abalala. Yasikirwa Alex Mukasa (Banda VII)
Mukasa Alex (Banda VII) yazaala Katiisa n’abalala. Yasikirwa Katiisa (Banda VIII).
Katiisa (Banda VIII) yasikirwa Emmanuel Ssimbwa Banda (Banda IX)
Emmanuel Ssimbwa Banda (Banda IX) yawa Ssuuna Mukasa (Banda X).
NB: Waliwo ba Banda (bajjajaffe) abaali mu Busiro tutumanyi bibakwatako. Omuwendo gwabwe guweera ekumi (10). Okusinziira mu nsikirano nga bweyali bali awo mu makati. (Ow’omutuba afuba nnyo okunonya/okumanya ebibakwatako nabyo bibeere mu bwino).
Guno gwe mutuba omuto ogwa Mukasa era muno mwemuva Banda okusinziira ku byafaayo bya Mukasa ne Kagwaala.
Bamunyaga muto wa Kikaawa yazaala abaana 10:
- Baligwa
- Zibugo
- Banda IV ye yasika
- Kyagulanyi–Waladde
- Lumanyika
- Ssebabenga
- Kalazane
- Kyaluzi
- Lukanga-Mukanaga
- Birimu
BALIGWA (Omwana wa Bamunyaga)
Baligwa yazaala abaana: Batulumao Ganga, Lulenti ne Byesenda.
Balulumao Ganga ye yasikira Baligwa
Yazaala abaana: Leo Zibugo, Laulio Luzinyi Ndawula ne Marserina Nalinnya
Laulio Luzinyi Ndawula ye yasikira Laulenti Walulira
Yazaala abaana: Ndawula, Kiyonga, Kiyimba, Kimbugwe Gerald (Musike we)
Leo Zibugo yasikira Batulumao Ganga. Yazaala abaana: Kyebambe
LUMANYIKA (Omwana wa Bamunyaga)
Yazaala abaana: Yozefu Maria Byaginga ne Kalala – Bafatebazade.
SSEBABENGA: (Omwana wa Bamunyaga)
Yazaala abaana: Bulasio Gabyayi, Augustino Kaggwa ne Maria
Ssebabenga yasikirwa muzzukulu we Deziderio Lumanyika. Era ye yasikira Kitaawe Augustino Kaggwa.
GABYAYI: Ye yasikira mukulu we Yozefu Maria Byaginga
Yazaala: George W. Muwonge, Oliva Namatovu ne Nakanwagi
AUGUSTINO KAGGWA: Yazaala: Deziderio Lumanyika ne Tereza Nanjeru
DEZIDERO LUMANYIKA: Yazaala Augustino Kaggwa, Kiweewa Joseph, Banda Deziderio, Ddingiro Fred, Luwangula, Ndawula, Deo Mukasa Ssuuna, Noa Lumanyika Balimunkoola, Lutalo, Mukasa Celiso, Goloba, Alex Mukasa.
Deziderio Lumanyika yasikirwa Banda Deziderio ate Bbanda Deziderio nasikirwa mutabani we Bamunyaga Richard.
Abawala:
N:B: Bbanda aliwo kati ye Deo Mukasa Ssuuna naye nga mwana wa Lumanyika Deziderio.
MAKANAGA (Omwana wa Gaali I [Banda II])
Yazaala abaana: Eremegio Ssengoma;
Abawala: Girayida, Nzeramwezi, Alubima, Leokadia
Eremegio Ssengoma yasikira Makanaga. Yazaala Kabiswa.
BALIMUNKOOLA (Omwana wa Gaali I [Banda II])
Yazaala abaana: Yozefu Kizza Nnaku, Bifanio Kaggwa, Antionio Kyaluzi, Matovu Mutebi
Abawala: Magdalena, Anjera, Bernadetta ne Tereza Nkinzi
Yozefu ye yasikira Balimunkola. Yazaala abaana:……………..
Muno mwemuva Omutuba omuto ogwa Nkumbi gukulirwa Omulangira Ssekamanya Muwonge ava mu Joswa Matalisi
KIKAAWA (Omwana wa Mukasa Omukulu – Muganda wa Bamunyaga)
Kikaawa yazaala abaana 3: Nkumbi, Buzibwa ne Bamutenda
Buzibwa ye yasikira Kikaawa
Buzibwa yazaala abaana 2: Mupere ne Majenge
Majenge ye yasikira Buzibwa
NKUMBI: Yazaala abaana: Joswa Matalisi, Antonino Sserwanga ne Paulo Musisi.
JOSWA MATALISI: Yazaala abaana: Yovenesi Kaggwa, Yekosofant Ganaafa, Yofesi Lwanga, Yakobo Matovu, Wasswa, Benedicto Kamya, Emmanuel Lubega
Abawala: Maria Mazzi, Tereza Nnakanwagi, Yoanina Nnalubega
ANTONINO SSERWANGA: Yazaala abaano:
Anastasio Nkumbi, Eremegio Kamya ne Karoli Tebandeke
Abawala: Pasikazia Nandawula, Kevina, Jeni Nanjeru, Teopista, Puliska Nankanwagi
PAULO MUSISI: Yazaala abaana: Paulino Ndawula (ye yasikira Paulo Musisi), Anjerusi Lwanga, Matia Mulumba, Kasiita Wasajja, Leonardi Kikaawa, George Bamutenda, Ssengabi, Ssekikaawa ne Katiisa
Abawala: Costansia Nandawula, Veneranda Namaganda Mpologoma, Frank Nanjeru, Namatovu Namalwa Jane, Nakanwagi Namukabya, Nakiyimba ne Nayiga.
BAMUTENDA (Mwana wa Kikaawa)
Yazaala abaana: Zekeri Ndawula ne Yakobo Matovu
Zekeri Ndawula yazaala abaana: Iga, Zalwango Alice, Nnamatovu Nabaloga ne Mazzi Nalongo Nabawanuka.
Yakobo Matovu yazaala abaana: Stone Kiwanuka ne Margarti Nakanwagi
Stone yazaala abaana: Banda, Kayondo, Nassuuna, Nakibuuka, Nayiga
Yiga yazaala abaana: Kateregga ne Nnalubega, Lumanyika, Nakanwagi Mega, Nansamba, Ndawula, Nakibinge.
Guno gwe mutuba omuto ogwa Kagwaala (ogukulirwa Omulangira Kagolo e Kanabulemu)
EZADDE LYA KAGWAALA
Kagwaala yazaala abaana 2: Ssingoma ne Bisobye
Bisobye yasikira Kagwaala.
Bisobye yazaala abaana 8: Balwana, Mbugano, Nkumanyi, Lukomwa, Kisibika, Senda, Kabirizi ne Mutabalirwa.
Balwana yasikira Bisobye.
Balwana yazaala abaana 8: Kyayi, Buyoga, Nagalale, Balikumbuga, Ndalama, Nsekera, Ntengo ne Balizzakiwa.
Ntengo ye yasikira Balwana.
Ntengo yazaala Wakulira Kasaalire Mitegulaki
Mitegulaki yasikira Lunagoba
Kente yasikira Mitegulaki
Luka Muyonjo yasikira Kente
Musambangabo yasikira Bamuloopa
Mawulugungu yasikira Musambangabo
Ssekibaala yasikira Zirimugwira
Pio Byakiziba yasikira Ssekibaala
Nsiyaleeta Simeo yasikira Lukomwa
Kamya Mataayo yasikira Kabirizi
Kaggwa Mikael yasikira Ndalama
NDAWULA KALOLI (YAZAALA MUKUNGANYA KALEMA GEORGE)
Ndawula Kaloli (azaala Mukunganya Kalema) yasikira Mutabalirwa
Kagwaala yazaala Bisobye. Bisobye n’azaala Mutabalirwa. Mutabalirwa n’azaala Ndawula Kaloli.
Ndawula Kaloli yazaala: Nassuuna, Mukunganya Kalema George, Anatoli Lukanga, Kiweewa Paddy, Nalinnya ne Kimbugwe. Kiweewa Paddy namusikira.
Mukunganya Kalema George teyazala mwana mulenzi. Omwana wa muto we Anatoli Lukanga ayitibwa Ssuuna Ronald yamusikira.
Mukunganya Kalema George yazaala: Ndagira Sylivia, Nandawula Gertrude ne Nakamanya.
Zakaria yasikira Luwunga
Leo Mukasa yasikira Zakaria
Balintuuma Stefano yasikira Yoanna Luzinyi.
EZADDE LYA LUNAGOBA (Mwana wa Ggaali I (Banda II))
Lunagoba yazaala abaana 4: Mityegulaki, Makozi, Luwungu, Nyengere.
Mityegulaki ye yasikira Lunagoba.
Mityegulaki yazaala abaana 5; Kente, Kwerigira, Mwera, Bitatule ne Bisansa.
Kente yeyasikira Mityegulaki.
Kente yazaala abaana 3: Nasanyiri Bamulumbye, Balimuttajjo ne Luka Muyonjo eyasikira Kente.
LUWUNGU:
Yazaala: Yoanna ne Zakaria, Andrea Mutakaya (Zerida ne Veronica)
Zakaria ye yasikira Luwungu
Zakaria yazaala abaana: Yozefu Wamala ne Leo Mukasa
Leo Mukasa ye yasikira Zakaria.
LUKA MUYONJO: Yazaala: Paulo Kasajja, Yowanna Kagolo, Zakayo Kasajja
Abawala: Federesi Alinyikira, Kayiyatati, Elesi Nanjeru
PAULO KASAJJA: Yazaala Ssalongo Kiwewa ye musika, Fenekansi Matovu,
Abawala: Nalubega Abisagi (Nachwa), Tabitha Alinyikira, Kisakye, Perusi, Gladys Nakalema, Nnalinya
SSALONGO KIWEEWA GEORGE WILLIAM: Yazaala: Muyonjo Abbey, Grace Juuko Bisobye, Kagolo Isaac, Ndawula Andrew, Kayondo Joshua, Kakungulu Willy, Omulongo Wasswa, Mukasa Frank
Abawala: Nakalema Faith, Rebecca Kabiite, Sharon Nayiga, Nakayenga Irene, Omulongo Nakato, Namaganda Miriam
NASANAYIRI BAMULUMBYE: Nasanayiri Bamulumbye yazaala abaana:
Fransisiko Bisobye, Benedicto Kente, Donozio Ssebuggwawo (Kimwanyi) ne Laurensio.
Omuwala: Bernadetta Namaganda.
FRANSISIKO BISOBYE
Yazaala abaana bano: Paskale Mulumba Bisobye Lunagoba ne Michael Sizomu Kagolo. Abawala: Maria Nakalema, Matilida Namaganda, Stephania Nanjeru, Nalubega, Elizabeth, Maurisia ne Angella Nandawula (ono yafumbirwa mu Nigeria).
KENTE BENEDICTO
Yazala Paulo Lukanga (ye musika wa Benedicto)
Paulo Lukanga yazaala Edward (ye musika we). Edward yazaala Bantubalamu n’abalala.
DONOZIO SSEBUGGWAWO (KIMWANYI)
Yazaala: Donozio Ssemakula (ye musika we)
Abawala: Federesi Nanjeru
PASKALE MULUMBA BISOBYE LUNAGOBA
Ye yasikira Fransisiko Bisobye. Yazaala abaana bano: Ndawula Charles, Kateregga John, Juuko Francis, Bamulumbye-Lubega Joseph ne Bisobye Alexander Albert, Moses Muwonge Lunagoba.
Abawala: Nakiweewa Maureen, Nnalongo Nakimbugwe Proscovia, Nanjeru Sylivia, Namaganda Geraldine ne Namatovu Catherine.
MICHAEL SIZOMU KAGOLO
Yazaala: Mukasa Muyonjo Deogratias
Abawala: Flavia Kirabo Namutebi Nassolo
EZADDE LYA BAMULOOPA (Mwana wa Ggaali I [Banda II])
Bamuloopa yazaala abaana 3: Musambangabo, Lukooza ne Kagenyi. Musambangabo ye yasikira Bamuloopa.
Musambangabo yazaala abaana 8: Mawulungungu, Kyanda, Bweta, Kimunye, Kalemba, Kamya, Yakobo Jjinja ne Rafael Kapere.
Mawulungungu ye yazaala Zaverio Ssingoma.
EZADDE LYA ZIRIMUGWIIRA (Mwana wa Ggaali [Banda II])
Zirimugwira yazaala abaana 3: Njawuzi, Bino ne Ssekibaala.
Ssekibaala ye yasikira Zirimugwira.
Ssekibaala yazaala abaana 3: Pio, Katunzi ye Yonasani Daki (e Minziiro)
Pio yeyasikira Ssekibaala
Yonasani yazaala: Petro ne Bulasio
Petro ye yasikira Yonasani Daki
EZADDE LYA LUGWA (Omwana wa Ggaali [Banda II])
Lugwa yazaala Tayisire.
Tayisire yazaala: Lubaale, Kagolo, Bitali, Kyomya ne Kyagalebula.
Lubaale yazaala: Mutagejja ne Basiga
Mutagejja yazaala: Obadiya Kaasa, Mukasa, Mbalire, Kabukerege ne Zekeri Kasimba.
Basiga yazaala Jemusi ne Mukasa Aliwonye.
Jemusi nazaala: Teofiro ne Yofesi ne Dinsani ne Kaggwa ne Kasiita
Kagolo yazaala: Muyonga, Kikumbwa, Dominiko, Eria Kasimbazi ne Zedekia
Muyonga yazaala: Ssemakula, Ssekabira, Zirimu ne Mitala ………….
Ssemakula yazaala Kasankala ne Mulekawoze.
Ssekabira yazaala Tigabala
Zirimu yazaala Bitasi ne Fransisko
Dominico yazaala Paulo ne Petro Bitali
Eria Kasimbazi yazaala: Living, Byuma ne Butyampa
Zekeri Kasimba yazaala: Kitamirike, Living, Lubega, Damulira, Sajjalyabene.
Obadiya Kaasa yazaala: Lazaro Ssengoma
MULAGWE (Muto wa Banda)
Bweyalaba nga Banda takomawo, Mulagwe yajja n’abalangira abalala 3: Galyasa, Njuuju ne Kyomya.
Mulagwe yazaala omwana omu ye Ssekimwanyi. Era ye yasikira kitaawe Mulagwe.
Ssekimwanyi yazaala abaana 5: Lutaya, Kwere, Lukka, Bayise, Damian ne Petro
Lutaya ye yasikira Ssekimwanyi. Lutaya yazaala: Petro Lubya, Sira Kyomya, Andrea Kiwanuka, Ignansio Mulumba
Ignansio Mulumba ye yasikira Lutaya
Ignansio Mulumba yazaala: George Lubega, Karoli Ndawula, Francis Edward Ssengabi, Dominico, Lutaya Emmanuel Wasswa
George Lubega ye yasikira Iganansio Mulumba.
Ssebugwawo Sirasi mwana wa Ssekimwanyi. Yazaala Ssengabi Crispine, ………………………………. Yasikirwa …………………….
Mugenyi muganda wa Ssekimwanyi. Yazaala Tasabadde.
Tasabadde n’azaala Kibuuka ne Dominico Lubega ab’e Kitenga, Masaka.
Kibuuka ye yasikira Tasabadde.
Omutuba omuto ogwa Ssekimwanyi gukulirwa Omulangira Kwere Mukasa, Omwana wa Paulo Galyasa
KWERE
Kwere mwana wa Ssekimwanyi yazaala abaana: Mikael Bintubizibu, Mulisi Werage, Paulo Galyasa, Yoanna Nkuyege, Tomasi Kasajja, Boniface Kyaluzi.
Abawala: Tezira Cecilia Nangoma, Bitolio Kalungi
Mikael Bintubizibu ye yasikira Kwere
Mikael Bintubizibu yazaala abaana: Matayo Muwonge ne Antonio Kaddu
Abawala: Zabeti Nassuna, Assumpta Nanjeru, Tereza Nanjeru, Anjera Nnalwanga, Mudesta
Matayo Muwonge yasikira Mikael Bintubizibu.
Matayo Muwonge yazaala abaana: Yosefu Muwonge, George Lwanga, Christopher Sserwanga, Colovisi Luwangula, Mutebi, Mugenyi Mawanda, Kiwewa
Abawala: Tereza Namaganda, Kevina Nassuuna, Noelina Nnalwanga, Nalinnya Namukasa
LUKKA BAYISE
Lukka Bayise mwana wa Ssekimwanyi. Yazaala: John Bull, Yozefu Kamadaali. John Bull ye yasikira Lukka Bayise.
John Bull yazaala Ssengabi
DAMIANO KIBIRITI
Damiano Kibiriti omwana wa Ssekimwanyi yazaala abaana: Karoli Kiwumbye.
Abawala: Yozefina Namaganda, Maria, Leontina, Nnamaganda ne Nassolo.
PETRO
………………………………….
………………………………….
GALYASA
Galyasa yazaala omwana omu ye Kakakaya.
BA SSEKABAKA BA BUGANDA
Kato Kintu bwe yayawukana ne muganda we Wasswa Lukidi yajjira ddala mu Buganda. Olwo nga eyitibwa Muwawa. Yasanga Bemba yali Kabaka we Buganda ng’akaabya abantu akayirigombe, bwatyo n’amulwanyisa n’amutta n’akuba embuga ku Magonga. Era n’awasa muwala w’omusajja eyayitibwanga Basajjalwendo. Omuwala amanya ge nga Nnambi Nantutuululu e Bunnamwaya. Kintu yafuga Obuganda nga bwe yali amaze okutta Bbemba. Era wano yazaala omwana n’amutuuma Chwa Nabakka. Chwa Nabakka yazaala Kalemera oyo ye yazaala Kimera. Chwa Nabakka afudde kati luno lwe lulyo lwa Bassekabaka okuva ku Kintu.
- Kintu Kato
- Chwa Nabakka
- Kimera – eyaggyibwa e Bunyoro
- Tembo – eyaggwa eddalu
- Kiggala Mukaabya-Kkungubu – eyawangaala ennyo
- Kiyimba – eyakambuwala ennyo
- Kayima – omulwanyi
- Nakibinge – Omulwanya mmuli
- Mulondo – eyali omuto
- Jemba – eyali omuteefu
- Ssuuna I – eyali omuteefu
- Ssekamanya
- Kimbugwe
- Kateregga
- Mutebi
- Jjuuko – Mu mulembe gwe enjuba mwe yakolera amagero
- Kayemba –Yawangaala nnyo
- Tebandeke – Yali mukambwe
- Ndawula – Yawangaala nnyo nga wa kisa
- Kagulu Tebuchereke – Yali mukambwe nnyo
- Kikulwe
- Mawanda – Yali mutabaazi
- Mwanga I – Obwakabaka yabumalako ennaku mwenda n’atemulwa
- Namugala Lukanga – Muteefu era wa kisa
- Kyabaggu
- Jjunju – Yali muzira
- Ssemakokiro – 1780-1786
- Kamanya – 1786-1826
- Ssuuna Ssemunywa – Ono yasooka kuba muteefu oluvanyuma yatta nnyo
Abantu mu mulembe gw’abaisirama mwe bajjira
1826-1856
30. Muteesa I – Christian Religious mwe bajjira. Yali mutangavu 1956-1884
31. Mwanga II – Eyatta abasomi 1884-1897
Ku mulembe gwe mwetondekamu ba Kabaka abalala
Olw’entalo ezaali mu Buganda
- Kiweewa – 1888
- Kalema – 1888 -1889
- Daudi Chwa II – 1879 – 1939
- Muteesa Walugembe II – 1939 – 1966
Ono yeyatuusa Uganda ku bwetwaaze era n’olulyo olulangira.
EBYAFAAYO EBIRALA EBYA BANDA I
Mu bufunze Banda ono bweyatuuka a Rukunyu ng’ateekateeka eggye agende okutabaala naye bwe yatuuka mu kkubo okumpi n’olusozi oluliranye Mitaga wano mwannyina Nangoma we yafiira. Era olusozi olwo n’ekyalo kyakwo kuyitibwa Nnangoma na buli kati.
Banda n’eggye lye balumba era olutalo ne luba lwa kabi nnyo. Enkomerero ya byonna Banda olutalo lwamulemerera era n’eggye lye ne littibwa nnyo ddala. Bwatyo kwe kudduka n’abo abaali basigaddewo ne bajja ne bagoba e Katongero Kanabulemu. Kyokka mu kusomoka omugga Kagera abantu bangi baafiramu nnyo ddaala. Nga batuuse e Kanabulemu kwe kufuna ekyalo ekiyitibwa “Buzindwa” awo ne bagobamu abatuuze abaamu. Wano Banda yalega engoma ye n’agituuma erinnya “Kikindu kizaalibwa n’amaaggwa” – amakulu tewali mulangira mutene. Buli gw’osemberera akukalubirira. Ate oluvannyuma Banda wano yavaawo n’agenda mu Ssango e Ggwanda wano n’akuba olubiri era mu bisera ebya Kabaka Daudi Chwa II era ettaka eryo lye yagaba era ku lusozi olwo we yateeka engoma eya kitaawe gyeyamuwa okumukulembera mu ntabalo ze ng’atabaala Tanzania.
Ng’amaze okutereera mu kitundu ekyo yateesa n’abakungu be okugenda okuwoza olutabaalo ewa Kitaawe kwe kulonda abanamuwerekererako.
Banda bweyatuuka ewa Kitaawe n’awoza era n’amunnyonyola engeri gye yagobebwamu era nga bwe yafuna ekitundu n’akiwambe n’okukubamu embuga era n’ategeeza Kabaka nga ekitundu ekyo bwekiri ekikulu nga kye kirimu engoma ye ey’obulangira Kabaka gye yamuwa.
Kabaka Kyebambe yalina mukyala we nga mugole. Banda kwe kumusobyako, eby’embi lwe lubuto. Naye lwali terunamanyika, Banda kwe kulaga mukodomi we nga bwe yali ategeka okudda e Buganda. Era mukodomi we kwe kumulagira ajje n’omulangira mu lunyoro “Omukonga” Winyi Ssansa Kitayimbwa II era ne Banda I yakkiriza n’ajja naye n’engoma eyamuwebwa yajja nayo. Bwe yatuuka e Kooki, Rakai n’akuba olubiri kuba ye teyafuna bamulwanyisa. Oyo ye Kamuswaga gw’owulira.
Banda ng’avudde e Bunyoro era nga wayisewo ennaku eziwera omukyala muka Kabaka yalabika ng’ali lubuto mu ngeri eteri mativu ku ludda lwa Kabaka. Era bwe yabuzibwa yategeza nga mukodomi wa Kabaka ayitibwa Banda bwe yavaako ebyo byonna. Mu busungu obungi Kabaka yamutumya mangu e Buganda, era bwe yatuusibwa e Bunyoro nga talina byawoza kwe kumusalira ekibonerezo kya kuttibwa. Naye oluvannyuma Kabaka yalaba nga kyansonyi okutta mukodomi we bwatyo n’amukolera ekibaya eky’envumbo n’amusibiramu n’amuteramu eby’okulya n’amusibiramu, namusindikiriza mu nnyanja. Bwatyo Banda nabulako amafiire.
Omukyala yazaala omwana omulenzi eyatumibwa Ggaali I. Yalabiriwa bulungi. Bwe yakula n’aleetebwa e Ssango okudda mu bukulu bwa Kitaawe. Abakulu abaaliwo bamukwatirwa obuggya ne bamutta era ne baziyiza abaana be okusikira engoma. Ensonga kwe kuletebwa ewa Kabaka Kamanya eyabatewuluza. Era mutabani wa Ggaali I, omuzzukulu wa Banda I nga ye “MUKASA” kwe kusikira engoma. Mukasa yalina baganda be 6 (mukaaga):
- Mukasa
- Kagwaala
- Lunagoba
- Zirimugwira
- Bamuloopa
- Lugwa
Mukasa yazaala abaana 2: Bamunyaga ne Kikaawa.
Bamunyaga ye yasikira kitaawe Mukasa.
Bamunyaga yazaala abaana 9:
- Baligwa
- Zibugo
- Banda II
- Kyagulanyi
- Lumanyika
- Ssebabenga
- Kalazaane
- Kyaluzi
- Birimu
Katiisa (Banda V) ye yasikira kitaawe Bamunyaga.
Katiisa yazaala abaana 8:
- Dona Ggaali II
- Mukasa
- Makanaga
- Waladde
- Kabiswa
- Kabango
- Balimunkoola
- Mikayiri Kaggwa
Mu baana ba Gaali I (Banda II) beyazaala era ne yeyongera okwaza abaana ye Kagwaala. Kagwaala yazaala omwana omu Bisobye. Bisobye yazaala abaana 8:
- Balwana
- Mbugano
- Nkumanyi
- Lukomwa
- Kisibika
- Senda
- Kabirizi
- Mutabalirwa
Balwana ye musika wa kitaawe Bisobye.
Nga bwetwalaba ekikolwa Banda I kye yakola ey’okwagala muka kitaawe ate nga ye Kabaka, abaana be tebayala bulungi mu maaso ga Kabaka n’ag’abakungu abaaliwo. Wano wewava Abaana ba Banda I ne Kibi Magembe Kaganda obutategeragana era ne balabika ng’abalimu enjawulo mu kika sso nga bonna basibuka ku jjajja bwe omu Wasswa Lukidi. Naye bonna basigaza erinnya lya jjajja bwe erya “Biito” era aba Banda aba Kibi Magembe Kaganda ne Kamuswaga bonna bayitibwa “Babiito” okujjukira omuti guli Lubiito jjajjabwe Lukidi ne Kintu we baazaalirwa.
Ebyo bye bikulu mu kusaasaana kw’abaana ba Wasswa Lukidi naddala abaana ba Banda mu Buganda. Wano tusanye okumanya ebimu ku ngeri gye bayatibwamu n’amanya agamu amakulu ge batuuma.
- Ekigambo “Mukonga” twafuna amakulu gakyo nga kiva mu lulimu Runyoro nti Mulangira okugamba nti Omukonga kye kimu n’okugamba nti Omulangira.
- Erinnya KIWEEWA– Omwana omubereberye owa Kabaka gwe yazaala nga omulenzi yayitibwanga KIWEEWA ng’ayitibwa Kiweewa wa Kabaka kye kimu n’okugamba nti omwana omulenzi omukulu owa Kabaka. Erinnya eryo teryatuumwanga Balangira balala okutuusiza ddala mu mirembe gya Kabaka Ssuuna II ne Muteesa I 1826-1884. Erinnya lino lyatandika okutuumwa buli mulangira. Naye kati lyadira Kabaka yekka ali ku Namulondo.
- Erinnya NASSOLO– Omwana omubereberye owa Kabaka gwe yazaalanga omuwala yayitibwanga Nassolo. Yayitibwanga Nassolo wa Kabaka. Kye kimu n’okugamba nti omwana omuwala omukulu owa Kabaka.
- NNALINNYA (Kitiibwa sso ssi linnya)– Kabaka bweyafanga oyo eyabanga Lubuga ng’ayitibwa erinnya eryo. Era nalyo teryakkirizibwanga kutuumwa mumbejja mulala.
- Ekigambo“Mulangira” kiva kungoma. Engoma Kabaka zeyawanga abaana be era n’eyo enkulu eyitibwa “Mulangira”. Awo nno abo bonna abasibuuka mu yo bayitibwa ABAANA B’ENGOMA.
- OBUBONERO
- Omubala
Omubala guno abalangira tebaba nagwo kuba emibala gyonna egikubwa gyegattira kungoma yaabwe anti nga mubo mwe muli Ssabataka akulira ebika byonna. Naye olw’abamu abaaweebwa engoma nebagenda okutabaala engoma ezo bazituuma amannya mu nvuga yaazo era bbo ne bagyeyambisa ng’emibala. Okugeza Kibi Magembe Kaganda – Akuba nti “Akabulunga tekalyibwa”
Banda akuba nti “Kikindu kizaalibwa n’amaggwa”. Era abalangira tebakuba mubala bakuba ngoma nga bakuba Bantadde:
“Bantadde, Bantadde, Bantadde
Ggwe ngo, Ggwe musota
Ekirimala Abasajja nyago
Kwata endeku tudde e Bembe.”
Wetegereze: Engoma eno tekubibwa eri ku ttaka. Basitula nsitule omulala nalyoka agikuba.
- Omuziro
Abalangira tebaba nagwo okuva edda omuziro gwa nnyabwe buli omu gwe yeddira.
EBY’OKWEKKANYA
1. Lwaki mu abalangira ba Buganda aba Bbanda be bayitibwa abakonga ate ng’abalala ssi bwe babayita?
Ekigambo Mukonga amakulu gaakyo gaabadde tegannyonnyoddwa bulungi mu biseera ebiyise, n’olw’ekyo okukyogera ng’abakiwulira bulala. N’olw’ekyo Banda ng’agobeddwa e Tanzania bweyatuuka e Ssango, engombo ye yali egamba nti “Abakonga twalya” oba nti “Twayija Abakonga b’ensi”. Abantu abaalimu tebaafuna makulu gebitegeza. Awo bo bamuyita Mukonga. Era n’abaana be bonna babayitanga Bakonga. Enkomerero bayitibwa Bakonga. Na kati ng’osanze omu ku bazzukulu abo abaana ba Banda n’omubuuza omuziro gwe, akwanukula nti tuli BAKONGA. Olw’okuba bulijjo baawuliranga babayita BAKONGA.
2. Lwaki abalangira ba Banda tebalya by’ennyanja?
(i) Omulangira Banda bweyagenda e Tanzania mu Bukama bwe Kiziba, Kyamutwara, Jjangiro, Ishozi ne Karagwe yasanga Abakama bayo tebalya by’ennyanja olwamanyi gebakozesanga nemizizo byago. Ekyo kyamuwaliriza naye obutabirya anti yattanga nabo emikago bw’atyo naye nalekerawo okubirya.
(ii) Banda bweyali azaama yagwa mu nnyanja era bagenda okumujjamu ng’eby’ennyanja bimuliddelidde yenna. Awo abakulu abaaliwo ne bagaana abaana babwe nabo benyini obutabirya.
Wetegereze bino!!!
Abalangira bangi n’abambejja bantukiridde nga bagala okulya eby’ennyanja. Nze ngamba bwenti empewo zaffe zatulungamya olubereberye nga Omulangira Kalema George, Mukunganya (omukulu empewo gwezalonda okutereza ensonga) akyaliwo obutalya byannyanja n’olw’ekyo sirina buyinza bubakiriza okubirya. Buli Mulangira n’omumbejja musaba empewo zaffe bwezinamulungamya ne zimukiriza okulya ebyennyanja nga balya.
Eky’okulabirako: Abalangira Remegio Kamya (mutabani w’Omulangira Antonino Sserwanga ava mu mutuba omuto ogwa Nkumbi) ne Laurlio Matovu Kagawaala (mutabani w’Omulangira Kagolo ow’omutuba gwa Kagwaala e Kanabulemu) bagwa munnyanja lwa kuvuba. Ate waliwo Omulangira omulala Goloba (mutabani w’Omulangira Lumanyika Ssebabenga Deziderio) yafuna omulimu ogw’okuvuba ng’aleese omulimu gweyali akola ogw’okutunda amata. Empewo yamulungamya enfunda ezawerako omulimu ogw’okuvuba aguleke. Yagaana oguleka era enkomerero yaggwa mu nnyanja naye n’afa. Mbasaba ensonga ey’obutalya byannyanja tugitwale nga nkulu nnyo nnyo mu Mutuba gwa Banda.
Era ensonga endala enkulu ddala, empewo zatulungamya obutalya “buwunyawunya” ebyali ebyenyanja n’embizi nga tugenda mu mbuga. Abalangira n’Abambejja empewo zatukiriza okulya embizzi yaffe nga tuli mu biseera byaffe eby’eddembe.
Oyo alina amaanyi ge mpewo zaffe kimukakatako obutalya byanyanja anti zonna za kumulembe gwa Banda n’olw’ensonga eyo sikitufu okugatika ensonga n’obukulu bwayo awamu n’obulombolombo.
- Lwaki Banda alowozebwa okuba nti yava Bunyoro?
Ensonga eno enyonyoleka bweti:
- Banda yalina mwannyina Kabooga (one tewali amanyi oba yali mumbejja oba mubere!) Ono yali muka Ssekabaka Kyebambe eyali afuga Bunyoro, olw’ensonga eyo yali mukodomi we ate nga muganzi olw’obuziira bwe ng’alwanira ku lukalu ne munnyanja ng’ate takozesa maato wabula okutambulako obutamubuzi. Yamuyamba nnyo okugoba abalabe be abavanga mu buvanjuba bwa Uganda.
- Yalina omukwano n’abalangira be Bunyoro era ye yatwala Omulangira Kitayimbwa e Kooki okulya obwa Kamuswaga. Tuyinza okugamba nti yali kayungirizi wakati wa Buganda ne Bunyoro.
- Okugendagenda e Bunyoro kwamufunyisayo omuzana ate ng’ono yali muka Ssekabaka waayo era ono yamutiika ettu namuzalamu omwana oyo ye Ggaali I (Banda II). Abalangira ba Buganda kano kalombolombo anti n’Omulangira Kalemera Mutikiza Nkumbi naye Ssekabaka Kimera yamuzalira Bunyoro, olowoza ekyo kyamufula Munyoro?
- Bw’otunulira ebiri e Kooki ewa Kamuswaga ye yalya bwa Ssaza eyo nayo njawulo Omulangira “talya bwami”. Ebyafaayo biraga nti Banda yagendanga Mengo okulanya n’okukiika sso teyagendanga Bunyoro! Amannya agatumibwanga abalangira n’abambejja tegali ge Bunyoro wabula gaali ga Buganda.
- Ensonga endala Ssekabaka Muteesa II yagendanga nnyo e Kanabulemu era yakubayo embiri bbiri – olwe Kalakeri ne Rukunyu era yayogeranga lunye nti ye agenda wa Jjaaja we Banda era yagambanga nti ngenze “Wumudde”.
- Enkola eyaliwo ku Muchwa abalangira abakulu b’emituba Ssekabaka Chwa II yabawanga mailo ekakasa nti Omutuba gulina embuga yagwo era abalangira n’abambejja webakunganiranga okusanyukamu n’okumala ensonga zabwe. Eno Banda agirina. Kyamukisa mulungi tenatundibwa anti ettaka lyafuuka kyatunzi liringa zaabu!!
Please check again and see if that is the information for your lineage.
i dont see any thing about BANDA OWOMUTUBA