Ettaka lye Mulungu

Ettaka lino lirambikiddwa bulungi mu byapa ebya 1912 Ref. FC18454 nti lya Ssekabaka Daudi Chwa II. Kuliko n’Embuga enkulu ey’omutuba gwa Ssekabaka Daniel MwangaII wamu n’ekifo awakolebwa emikolo egyenkinzo mu Lulyo Olulangira.

Era bwewajjawo okubuusabuusa ku bwannanyini bwettaka lino, ensonga twazitwala mu Kkooti ya Uganda wansi w’omusango Application No.1087 of 2017 mwetwasabira Kkooti eyimirize mbagirawo abo bonna, naddala aba Buganda Land Board, abaali batandise okutwaala ekifo kino nga ekiri wansi w’obuvunaanyibwa bwaabwe omwaali okusolooza sente ku basenze abaliko wamu nenkola endala zonna ezeekuusa ku kulaga nga bwebalina obwannanyini ku kifo ekyo.

Kyatwewunyisiza nnyo nga tulaba ebifaananyi ku mikutu egy’enjawulo, mu kiseera kino nga tuli mu muggalo gwa Covid-19, nga ebitongole ebyogeddwako waggulu mu kiwandiiko kino bikola ekikwekweeto nga ffe bannanyini kifo tetweebuziddwako wadde okutegeezebwa. Ng’ojjeko okyokuba nti ekyakoleddwa kyabadde kikontana n’ebiragiro by’Omukulembeze w’Eggwanga bweyawera ebikwekweeto byonna ku ensonga z’ettaka mu kadde ak’omuggalo, naye era kwabadde kuyisaamu Kkooti lugaayu kubanga ensonga z’ekifo kino zikyali mu mikono gyaayo.

Bwekiba nga ensonga yaali ekwaata ku nnyanja eyatandika okusasaanira emyaalo, twanditegezeddwa ku byonna ebyali bisaliddwaawo, sso ssi ku birabira mu mikutu. Twongera okukkujukiza nti tufuna okusoomozebwa olwa Buganda Land Board okulemererwa okwawula ettaka lyevunaanyizibwako kweryo erivunaanyizibwa ab’Olulyo Olulangira.

 

Download official communication to Katikkiro of Buganda