
Bya Anthony Ssempereza
NKWANIRIZZA mu lubiri lwa Ssekabaka Mwanga, omuli ennyumba ez’ebyafaayo.
Olubiri luno lusangibwa Munyonyo, era wano Ssekabaka Mwanga we yabeeranga n’abavubuka abaali bamuweereza, oluvannyuma n’asalawo okubatta nga batandise okusoma eddiini ate n’agibagaana ne bamujeemera.
Olubiri luno lukuumiddwa bulungi, era n’ebimu ku bintu Ssekabaka Mwanga bye yalulekamu bikyaliwo.
olubiri luno lwaddabirizibwa Ssekabaka Daudi Chwa II mu 1930 n’azimbamu ennyumba ezikyaliwo ne leero n’oluvannyuma n’alukwasa mutabaniwe omukulu omulangira George william Mawanda era wano we yawasiza mukyala we Felictus Nabisenke.
Amabaati agaazimbisibwa magumu nnyo era n’okutuusa kati tegatonnyanga kyokka baagasiigako langi okugalabisa obulungi.
olubiri luno lwali lugazi ddala kyokka mu biseera by’entalo eza 1966 ettaka lyalwo lyatwalibwa ne kusengako abantu abalala bangi.
Mulimu omuti gwa falaawo Mwanga gwe yasimba mu luggya era abaawaka bagukuumye.
Yalina omuti omunene mwe yatuulanga n’awummula nagwo gukyaliwo.
Mu lubiri luno Ssekabaka Mwanga we yasinziira n’aduumira ekikwekweto ky’okutta abasomi abaali bamujeemedde nga bagenda okusoma eddiini y’Abazungu gye yali abagaanyi. Mwanga bwe yafa mutabani we Ssekabaka Daudi Chwa II.
Ekiseera kino olubiri luno kati lwa Mulangira Fredrick Walugembe Mwanga. Ebyafaayo byonna eby’olubiri luno abikuumye bulungi.
Omuzaana Nalongo Tereza Walugembe agambye nti “Olubiri luno lwa byafaayo nnyo, era tululabiridde bulungi, wano ebyafaayo by’abajulizi we bitandikira, kubanga Ssekabaka Mwanga we yabeeranga ekiseera abajulizi we battirwa.
Agasseeko nti Mwanga okutta abajulizi yakomawo mu lubiri lwe , ng’avudde okuyigga ku kizinga Bulingugwe n’asanga, ng’abaweereza bonna bagenze okusoma. Olw’obusungu obungi yakwata effumu, n’alisogga Andrew Kaggwa nga 26/05/1886.