Ettaka lya Balangira

Mmengo erina okutuddiza ettaka lyaffe- abaana ba Ch
wa
Bya Angel Lubowa ne Anthony Ssempereza
Monday, 21 June 2010 15:15
Nalinnya Nakabiri n’omulangira Ssimbwa mu lukiiko.
ABALANGIRA n’abambejja abava mu Ssekabaka Daudi Chw
a abaludde nga
beemulugunya ku Mmengo n’ekitongole kya Buganda Lan
d Board [BLB] okulemera
ettaka lya kitaabwe baatuuzizza olukiiko olw’enjaw
ulo ne bayisa ebiteeso ettaka
libaddizibwe mu bwangu.
Mu lukiiko luno olwatudde mu maka g’Omulangira Davi
d Ssimbwa 75, e Kabowa ku
Lwomukaaga, Abalangira
n’Abambejja
baategeezezza bazzukulu
baabwe nti ensonga eno
baamaze dda
n’okujanjulira pulezidenti
Museveni bwe
baamusisinkanye mu
makaage e Ntebe wiiki
ewedde nga bagamba nti
bakooye
okubuzaabuzibwa.
“Twamutegeezezza
(Museveni) nti bwe yali
azzaawo Obwakabaka mu 1993, ebintu bya Buganda byon
na ebyali mu
gavumenti yabizza Mmengo nga tayawuddemu ebimu ebya
li eby’obwannannyini
ng’ebya Chwa,” omu ku beetabye mu lukiiko bwe yate
geezezza.
Lwetabiddwaamu Aba-mbejja Elizabeth Nakabiri 84, Ed
ith Nabweteme 91,
Beatrice Muggale 78, abamu ku baana ne bazzukulu ba
abwe ssaako Abambejja
aba Ssekabaka Muteesa II okwabadde Sarah Kagere ne
Diana Teyeggala.
Lwatudde mu kyama oluvannyuma lwa Katikkiro J.B Wal
usimbi okuweereza
ebbaluwa ng’abategeeza baleme kulutuuza kuba ensong
a zaabwe zaabadde
zikolwako era ng’ebimu ku byabadde bisuubirwa okuva
amu byabadde biyinza okutegeerebwa obulala. Wabula baagenze mu maaso nal wo nga bagamba bye
baabadde bateesaako byabadde bya nda ya Chwa ebiri ebweru wa Walusimbi. Bino biddiridde Ssimbwa ne banne okuwandiikira Mme
ngo ne BLB ku nsonga z’ettaka lya Ssekabaka Chwa ery’obwannannyini, Katikkiro Ying .J.B Walusimbi n’abaanukula mu buwandiike ng’alagira BLB okubawa yiika 100 eziri mu bitundu
bya Buganda ebitali bimu. Abaana ba Chwa bagamba nt
i ettaka lino
bakyalemeddwa okulifuna olwa ofiisi ekola ku nsonga
z’abafu okubeekikamu
ng’ebassaako obukwakkulizo ekyabawalirizza ensonga
okuzitwala ewa
Museveni.
“Tewali nsonga lwaki ab’ofiisi y’ensonga z’abafu ba
tutuma okuleeta abazzukulu
ba kitaffe Chwa ng’ate ffe abaana weetuli. Oyo tumu
twala nga kiremya
omugenderere nga waliwo abaagala okusigala nga baga
nyulwa mu ttaka lino,”
Omumbejja omu bwe yacwacwanye. Kabaka Mutebi y’omu
ku bazzukulu ba
Chwa.
Kyasaliddwawo nti Ssimbwa, Nabweteme ne Nakabiri ba
kwasibwe obuyinza
okulabirira eby’obugagga n’ettaka lya kitaabwe Chwa
. Pulezidenti yabasuubizza
okwetegereza ensonga zaabwe.
iew=article&id=25138:mmengo-
erina-okutuddiza-ettaka-lyaffe-abaana-ba-chwa&catid
=39:mengo&Itemid=578

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Google photo

You are commenting using your Google account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s