Enjawukana mu Lulyo

agakagwawo

Buganda

Ssimbwa alaajanidde Mmengo ku by’Abalangira

OMULANGIRA omukulu mu Buganda, David Alexander Ssimbwa avuddeyo n’agamba nti wasaanidde wabeerewo ekikolebwa mu bwangu olw’obutakkaanya obw’amaanyi obuliwo mu lulyo olulangira, ekiyinza okuvaako Obwakabaka okufuna ekizibu.

‘Bannange ebintu mubiraba ng’ebiri obulungi naye olulyo olulangira ensimbuko y’Obwakabaka lutaaguse ebitagambika era kyeraliikiriza’, Ssimbwa bwe yategeezezza aba Bukedde be yasisinkanye mu makaage e Kabowa okumpi ne Kampala.

Ssimbwa yagambye nti ekisinze okuleeta obutakkaanya mu baana b’engoma, y’embeera embi gye balimu nga balinga emmombooze mu Bwakabaka tewali abafaako, Kabaka yabeggyako dda ne bwe bakola batya okumulaba tebakkirizibwa.

Agamba nti kyandibadde kituufu Mmengo ebeeko ensawo entonotono gy’essaawo okuyamba abaana b’engoma ng’ ensimbi eziteekebwa mu nsawo eno ziva kwezo ezisoloozebwa okuva mu ttaka lya mayiro 350 ery’olusuku lwa Kabaka.

Ssimbwa agamba nti mu kiseera kino Abalangira n’Abambejja naddala abaana ba Muteesa bali mu mbeera mbi nnyo nga Kabaka talina kyakoze kubayamba era bino bye byavaamu okumutwala mu kkooti (Kabaka) ne bamuwawaabira ku bwannannyini bw’ettaka lya mayiro 350 lye balowooza nti lisaanidde liyambe olulyo Olulangira naddala abaana b’engoma bonna.

Yagambye nti okumanya nti Abalangira n’abambejja kati baafuuka ekitagasa, abamu ku bakulembeze e Mmengo batuuka n’okubavuma n’okubakola ebikolwa ebirala byonna ebibayisaamu amaaso ne batuuka n’okulowooza nti waliwo abatuma.

Omulangira Ssimbwa yagambye nti Kabaka nti y’avunaanyizibwa ku kutereeza olulyo Olulangira ng’ayita mu kubasisinkana buli ludda lutereeze bye lusobezza .

Wabula omuwabuzi wa gavumenti ya Kabaka ku by’amateeka,  Apollo Makubuya, yayanukudde Omulangira Ssimbwa n’agamba nti ye n’ab’ekiwayi kye bwe baba baagala wabeerewo enteeseganya, bateekeddwa kumala kwetondera Kabaka olw’ebikolwa eby’obujoozi bye bazze bakola.

Makubuya yawadde ekyokulabirako nti abantu bano baagenda ne bawamba Amasiro ne bagezaako okulumba Olubiri lwe Mmengo, nga kati baatwala ne Kabaka mu kkooti nga bamuvunaana olw’ettaka lya mayiro 350!

Yalumirizza Abalangira n’abambejja bano nti balina ebigendererwa byabwe n’agattako nti Mmengo terina buvunaanyizibwa ku bya nsonga za lulyo Lulangira kyokka nakiggumiza nti tewayinza kubeerawo nteeseganya nga batwala Kabaka mu kkooti ne bamuwawaabira basooke baggyeyo emisango ensonga zaabwe zirabike nti ziyinza okutunulwamu.

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Google photo

You are commenting using your Google account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s